TOP
  • Home
  • Agawano
  • Nnaalongo bamukutte abba mwana mu ddwaaliro e Mulago

Nnaalongo bamukutte abba mwana mu ddwaaliro e Mulago

By Musasi wa Bukedde

Added 25th December 2017

POLIISI etaasizza Nnaalongo abatuuze gwe babadde baagala okugajambula nga bamulumiriza okubba omwana mu ddwaaliro ly’e Mulago - Kawempe.

Mata1 703x422

Nnaalongo Namukasa nga yakakwatibwa.

Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde poliisi y’e Kawempe yayitiddwa okutangira abantu okw’abadde abajjanjabi n’abalwadde abaabadde batandise okukuba Nnaalongo Oliver Namukasa 30 ow’e Ndejje mu Lufuka Zooni mu disitulikiti y’e Wakiso gwe baabadde balumiriza okubba omwana wa Irene Nakintu ne Wyclife Byamugisha ab’e Kiteezi.

Bino bigenze okubaawo ng’omulambo gw’omwana omuwere eyali owa Immaculate Kyomugisha, 21 ne Jonnathan Mutebi gwabulira mu ddwaaliro lino.

Namukasa yategeezezza nti okuleetebwa mu ddwaaliro ly’e Kawempe, yasooka kuzaala balongo Wasswa ne Nakato mu ddwaaliro lya KCCA mu Kisenyi ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde Wasswa n’abuuka.

Eyasigalawo ng’embeera ye ssi nnungi n’amuleeta e Kawempe afune obujjanjabi nga yamazeeyo ennaku nnya Nakato naye n’abuuka.

“ Abaana abaweere bateera okufaanagana era olwakutte omwana ono n’abadde mmaanyi nti ye Nakato naye saabadde na kigenderwa kya kubba bbeebi”, Namukasa bwe yannyonnyodde.

MAAMA W’OMWANA EYABIDDWA AYOGEDDE

Nakintu 24, maama w’omwana yabbiddwa yagambye nti, “Omwana namuzaala nga December 15, omwaka guno kyokka nga tali mu mbeera nnungi abasawo kwe kumuteeka mu kifo we bakuumirwa abaana abeetaaga okulabirira mu ngeri ey’enjawulo nga gye mbadde muyonseza.

Yagambye nti mu ddwaaliro abadde amazeeyo wiiki emu era mu kiseera Namukasa we yabbidde omwana we y’abadde asiibuddwa ng’ali n’abooluganda lwe bategeka kudda ka.

Yagasseko nti Namukasa abadde amulaba mu waadi nga yasooka kwegomba nviiri za mwana ng’aziwaana nga bwe ziri ennungi kyokka nga tamanyi nti yalina ekirowoozo ky’okumubba.

AB’EDDWAALIRO

Sarah Ndibalekera omwogezi we ddwaaliro ly’e Kawempe yategeezezza nti, omujjuzo kiyinza okuba nga kye kivaako obuzibu buno kuba kiba kizibu okwawula abalwadde, abajjanjabi n’ababbi.

Yagambye nti abazadde abamu beesiga abantu be basanze mu ddwaaliro ne batuuka n’okubalekera abaana nga balowooza bannaabwe so nga babbi n’abasaba okwegendereza abantu be balekera abaana baabwe, Bwe yabuuziddwa engeri abaana gye bafulumizibwa mu ddwaaliro, abakuumi ne batabategeera, yagambye nti ababbi basooka kutwala ebbaluwa ezisiibula abazadde mu ddwaaliro ne kibanguyiza okufuluma nga tewali abalemesa.

Yagambye nti abamu babba abaana ku bamaama abatalina bajjanjabi.

N’agamba nti bafuba okubuulira abazadde engeri y’okukuumamu abaana baabwe kyokka abamu tebafaayo n’abasaba abaana babalekere abantu bokka be bazze nabo okuva eka so si be basanze mu ddwaaliro abasooka okubakolako olukwano.

POLIISI EYOGEDDE

Agnes Aanyu, akulira poliisi y’e Kawempe yagambye nti Namukasa yaguddwaako omusango gw’okubba omwana oguli ku fayiro nnamba SD:REF:65/21/12/2017 era waakuvunaanibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....