TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka w'e Mawogola Joseph Ssekabiito ajaguzza emyaka 20 mu bufumbo

Omubaka w'e Mawogola Joseph Ssekabiito ajaguzza emyaka 20 mu bufumbo

By Musasi wa Bukedde

Added 25th December 2017

Omubaka w'e Mawogola Joseph Ssekabiito ajaguzza emyaka 20 mu bufumbo

Sek1 703x422

Omubaka Ssekabiito ng'awuubira ku bantu be abazze okumujagulizaako

OMWAMI w'essaza ly'eMawogola Ssalongo Felix Nsamba Kabajjo asabye ababaka ba Palamenti abali mu kuteesa ku kiteeso eky'okugga ekkomo ku myaka gya  Pulezidenti  balowooze ne ku ky'okuzzaawo enkola ya Federo akawaayiro ako kakwatibweko Buganda eddizibwe obuyinza. 

Ono abyogeredde Ndaiga mu ggombolola y'eLwebitakuli eSsembabule ku mukolo ogwokujagulizaako Omubaka akiikirira Mawogola mu Palamenti Joseph Ssekabiito ne munne Betty Nayebare okutuuka ku myaka 20 mu bufumbo obutukuvu .

alt=''

Emikolo gy'atandise n'ekitambiro kya Missa ekyakulembeddwaamu Akulira ebyenjigiriza mu ssaza ly'eMasaka Fr. John Fisher Kiyimba ng'ono alaze okutya olw'obufumbo obwongedde okusasika nga kivudde ku mwenkanonkano n'obutabanguko ng'abasajja ensanji zino batambula n'ebisago n'abakazi bafumba lwa baana.

Bbo abafumbo Joseph Ssekabiito ne mukyala we  munne Betty Nayebare beebazizza katonda olw'ekirabo eky'obulamu ky'abawadde n'okubaakuumira obulungi mu bufumbo bwabwe. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente