TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Luwalira yennyamidde olw'ababaka okukyusa Ssemateeka

Bp. Luwalira yennyamidde olw'ababaka okukyusa Ssemateeka

By Musasi wa Bukedde

Added 26th December 2017

LUTIKKO y'e Namirembe yawuumye ku Mmande ng’abakkiriza mu Katonda beetabye mu kusaba kwa Ssekukkulu okukuza amazaalibwa ga Yesu.

Ssaavanamirembe18 703x422

Omulabirizi Luwalira ng'abuuza ku eyali Katikkiro w Uganda, Apollo Nsibambi. Wakati ye sipiika w'olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya ne Faith Luwalira ku ddyo.

Bya PETER SSAAVA

LUTIKKO y'e Namirembe yawuumye ku Mmande ng’abakkiriza mu Katonda beetabye mu kusaba kwa Ssekukkulu okukuza amazaalibwa ga Yesu.

Omulabirizi w'e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, eyakulembeddemu okusaba, yennyamidde olw’ababaka okuteeka amaanyi amangi ku kkomo ku myaka gya Pulezidenti okusinga ebizibu ebirala ebiruma abantu mu ggwanga.

Omulabirizi yategezezza nti eggwanga lirimu ekibba ttaka , ettemu eryali e Nansana n'e Ntebe, n’abeebijambiya abatema abantu nga bino byonna tebifiiriddwako ate nga  bikosa Bannayuganda.

Ye akulira ekitongole ekibulira enjiri mu bulabirizi buno, Rev Samuel Muwonge yasabye abantu okujja mu bungi mu kusaba kw’okumalako omwaka okugenda okubeera mu bimuli by’obulabirizi nga December 31.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte