TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Batabukidde Ssekandi mu Klezia e Lubaga ng'awolereza abaakutte ku Konsityusoni

Batabukidde Ssekandi mu Klezia e Lubaga ng'awolereza abaakutte ku Konsityusoni

By Muwanga Kakooza

Added 26th December 2017

OMUMYUKA wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi abantu bamutabukidde mu kusaba e Lubaga bw’ababadde agezaako okunnyonyola ebyabaddewo mu kukyusa Konsityusoni okuggyamu akawaayiro k’ekkomo mu myaka gya Pulezidenti akabadde katangira Pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo mu 2021.

Kwata1 703x422

Okuva ku kkono: Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'alina by'anyumya n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Ssekandi (wakati) ne minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza, J.C Muyingo. Ekif. Muwanga Kakooza

Ssekandi yabadde mu kusaba kwa Ssekukkulu e Lubaga okwakulembeddwa Ssabasumba w’esaza ekkulu ery’e Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga nga kwetabiddwamu katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga n’abanene abalala.

Mu kusaba kuno, Ssabakiristu w’esaza, Anthony Mateega  yasoose kucomera babaka ba Palamenti ng’abakuutira okuwulirizanga eddoboozi  ly’abantu wamu n’okuvumirira ebigambibwa nti abajaasi bayingira Klezia y’oku Palamenti mu biseera by’okukyusa Konsityusoni.

Kyokka Ssekandi bwe yaweereddwa omukisa okwogera yagambye nti Konsityusoni ekkiriza okugikwatako.

Yagambye nti y’omu ku baagikola era erimu obuwaayiro obulambika engeri y’okugikyusaamu.

Kino tekyasanyudde bantu abaatandise okuvuvuuma n’oluvannyuma eddoboozi ne likulira ddala nga bagamba nti ‘’..a..a..a..’’.

Kyokka yagenze maaso n’okwogera wakati mu bantu okuvuvuuma okulaga nti ssi bamativu na byabaddewo.

Oluvannyuma Ssabasumba naye yavumiridde eky’okukwata obubi ababaka abaabadde bawakanya okukyusa Konsityusoni n’asaba abakuumaddembe okuba n’omutima gw’obuntubulamu.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yagambye nti abantu ba Buganda balina okutwala Kabaka ng’ekikubagizo kyabwe bwe baba mu mbeera ebanyigiriza ng’eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bo1 220x290

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti...

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Index 220x290

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa...

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

39248881101567630827890782826876916504461312n 220x290

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola...

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde...

Shecranes03 220x290

She Cranes ekubye Malawi mu za...

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule...

Hip1 220x290

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza...

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba