TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde engeri gy'oyinza okukola ssaabuuni mu bikoola by'amapapaali n'okugoba embalabe

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde engeri gy'oyinza okukola ssaabuuni mu bikoola by'amapapaali n'okugoba embalabe

By Musasi wa Bukedde

Added 27th December 2017

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde engeri gy'oyinza okukola ssaabuuni mu bikoola by'amapapaali n'okugoba embalabe

Ke1 703x422

Polof.Nyanzi Julius owa Julius Nyanzi owa Prof bioresearch

Abantu ebbanga lyonna babadde banyooma ebikola by’amapaapaali ne beerabira nti bajjajjaffe obugunjufu bwabwe baabulagiranga mu bikoola by’amapaapaali. Abangereza we baaberera mu butiti nga tebanaaba ne bafuna obulwadde bwa kawumpuli ne bubatta okubamalawo mu kyasa kya 15, ate bajjaja ffe bo baali bategedde ku bikoola by’amapaapaali. Baabyozesanga engoye okugoba obucaafu, okunaaba kuba bikola ekyovu omuntu n’abikozesa n’asobola okweyonja ate nga takoseddwa.

Ebikoola by’amapaapaali bikomyewo mu kyasa kino nti tusobola okubikolamu sabbuuni kuba tufunye embeera mu biseera bino nti sabbuuni gwe tukozesa ennaku zino ow’okwoza n’okukuuta tumukozesa okunaaba ekikyamu, kuba akakanyaza olususu. Ono alimu ekirungo kya ‘Caustic soda’ ekyokya olususu ne kirukaddiya.

Osanga omukyala ava okwoza engoye naye ng’engalo zonna zisiridde n’okukakannyala.

 kibala kyeppaapaali Ekibala ky’eppaapaali

 

KOLA EVVU MU BIKOOLA BY’AMAPAAPAALI

Kaza ebikoola by’amapaapaali obyokye muveemu evvu lye tufumba ne butto ava mu nnazi, netugattamu n’evvu eriva mu kisubi ky’amajaani ne tutereka sabbuuni ono okumala emyezi mukaaga n’akola sabbuuni w’ekiddugavu ow’ettunzi ku katale k’ensi yonna. Mu Amerika, oyo sabbuuni gwe bakozesa kubanga bo tebakozesa kintu kyonna kirimu biragalalagala.

Tulina okukkiriza mu ssaayansi nti, ekintu kyonna ky’oteeka ku lususu lwo oteekeddwa okuba ng’osobola n’okukirya, ky’otolya tokissanga ku lususu lwo kuba gwe mumwa ogusingayo obunene, ky’ova olaba ng’obutwa bukuyingira mangu ekiraga nti olususu lulimu obutuli obuyitamu entuuyo okufulumya obucaafu obuva mu musaayi ggwaffe. Mu mbeera eyo tulina okukozesa ebintu by’obutonde.

Alina amapaapaali, ofunye omukisa okukolamu sabbuuni ow’obutonde agenda okuyamba abantu abalina ebizibu by’ensusu nga embalabe, kuba z’ezisinga okutawaanya abantu ennaku zino.

Sabbuuni ono alimu ekirungo kya ‘Saponin’ ekiyamba okutta obuwuka bwonna obuleeta embalabe, ate nga takakanyaza lususu kuba talina bbugumu lisobola kwokya lususu

Sabbuuni ono osobola n’okumusenyesa kubanga wa ‘alkaline’. Tulina obuzibu nti ‘fluoride’ ekirungo ekissibwa mu ddagala ly’amannyo kiwomoggodde ebituli mu mannyo g’abantu ne bafuna obuzibu mu kulya ebinnyogoga oba ebyokya, kuba buli kiseera amannyo gaba gabaluma nga n’oluusi bagaayamu katono nga bamira okukkakkana ng’embuto zeesibye.

Osobola okukozesa sabbuuni ono n’oyambibwa okuggyamu asidi yenna ayokya amannyo, ‘fluoride’ yenna n’omwozaamu n’amannyo ne gasigala nga malamu. Ensi nga Nigeria bafunye mu sabbuuni ono era bo bamuyita ‘Dudu soap’ nga waliwo ne kkampuni ezaagezaako okukozesa erinnya lya ‘Dudu’ nga bakiggya mu bikoola by’amapaapaali.

Mu Amerika mu katale ka AGOA aba Nigeria bafuna ssente mpitirivu kuba kye kimu ku bintu bye bakyasinze okutunda ebweru w’eggwanga lyabwe.

Ku baana abawere, abayamba ku lususu. Bw’omuggya ku kyogero musse ku sabbuuni avudde mu mapaapaali. Ayamba okuweweeza olususu n’atayokebwa pampa, aziyiza okubutuka, agonza olususu.

 sabbuuni akoleddwa mu bikoola byamapapaali Ssabbuuni akoleddwa mu bikoola by'amapapaali

Eri omusajja amwedde ebirevu, siigako ebyovu okuva mu bikoola by’amapaapaali obutafuna butulututtu n’obuzimba. Ne bw’oba ogenda kusala ekirevu osobola okumusoosaako.

Ku bakyala, abayamba okulwanyisa kandida n’okuleka obuwuka obwetaagibwa nga bulamu mu bitundu byekyama.

Ku kaabuvubuka, mukube mu nkwawa ogobe olusu ate akola ng’akawoowo. l Aziyiza olusus okukaddiwa n’olabika bulungi.

Ku bisolo ebiwunya nga embwa ne kkapa, binaaze sabbuuni w’amapaapaali bisigale nga biwunya bulungi ate nga tebikoseddwa. l Abalina binnamakula, sabbuuni ono abayamba.

Abafuna ebiba ng’awamu beeru ate awalala baddugavu abayamba okutereera.

Akola ng’ebizigo naddala ku balina ensusu ezikala n’azirekamu ka butto kuba tayokya lususu. l Abakooye ennyo, akkakkanya ebirowoozo kuba akuweweeza.

Osobola okukolamu ebigimusa, mulimu ekirungo kya ‘magnesium’ ekigoba ebiwuka ate ne kikola ng’ekigimusa kuba ebikoola birimu ekirungo kya ‘Saponin’ ekiremesa ebiwuka okulya.

Funa ebikoola obikaze, obyokye ofunemu ensaano. Tabula kkiro emu ey’ensaano mu liita z’amazzi 20 ofuuyire ebirime. Bitaasa nnyo ennyaanya ng’ogasse ebikoola by’ennyaanya n’eby’amapaapaali.

Lino ly’eddagala eriyamba ku kuwotoka kw’ennyaanya ne ‘Blight’ ne bakitiiriya zonna ezikosa ennyaanya.

Asobola okukola nga sabbuuni anaaza mu nviiri. l Ayamba ne ku mubiri ogusiiwa. Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...

Kola 220x290

Obwavu bwamugabisa omwana wange...

KITUUFU obwavu tebukumanyisa akwagala. Omuwala yagabira omusajja alina ssente omwana wange. Nze Ronald Kakooza...