TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakyala baloopye abaami ababassa ennyonta y'omukwano, ekibaviiriddeko okwenda

Abakyala baloopye abaami ababassa ennyonta y'omukwano, ekibaviiriddeko okwenda

By Musasi wa Bukedde

Added 28th December 2017

ABAKYALA ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu Disitulikiti y’e Wakiso balumirizza abaami baabwe okubakuba omugongo ekivaako okwenda nga bafa ennyonta y’omukwano.

Kiryamuli3 703x422

Owapoliisi Kirya ng’ayogerako eri abatuuze.

Bya WASSWA B. SSENTONGO

Bino abakazi baabitegeerezza mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwabadde lukubirizibwa atwala poliisi y’e Matugga, ASP Brigthon Steven Kirya nga lwagendereddwaamu okusomesa abantu ku ngeri gye bayinza okwewalamu obutabanguko mu maka gaabwe.

Olukiiko luno olwetabiddwaamu abakulembeze b’ebitundu, poliisi okutuuka okulutuuza kyaddiridde obutabanguko mu maka okweyongera mu bitundu by’e Matugga ekivuddeko obufumbo okusasika nga n’abaana balekebwa mu maka ne watabaawo muntu yenna abalinako obuvunaanyizibwa.

Kirya yategeezezza nti poliisi efunye emisango egyenjawulo ku bafumbo nga mu gino mulimu ababeera beerumiriza obwenzi ekivaamu kulwanagana okukkakkana nga beetuusizzaako obulabe ssaako n’obutaweerera baana baabwe.

ABASAJJA TEBATUWA SSANYU

Abakyala mu kwanukula baategeezezza ng’abaami baabwe bwe bayitiridde okubakuba omugongo mu kisenge ne bakomawo okwebaka obwebasi nga tewali kye bakozeewo.

Cissy Nalukenge omutuuze mu kitundu kino yategeezezza nti ekibatwala mu bwenzi kwe kuba ng’abaami baabwe tebabawa ssanyu lya kisenge kyokka nga nabo bantu ababeera n’obwagazi ekivaamu nabo okufunayo omuntu ow’ebbali ayinza okubawa ku ssanyu.

Yagasseeko nti abaami babwe abasinga balina abakyala abalala ng’olukomawo awaka abeera tayagala kukwata ku mukazi we ekintu nabo ekibanyiiza.

ABAKAZI BACAAFU - ABASAJJA

Wabula bbo abasajja abaakulembeddwaamu Timothy Muwonge mu kwanukula abakyala, baategeezezza nga bakyala baabwe bwe bayitiridde obucaafu nga bangi bwe batuuka mu mukwano babeera bakambira nga nabo oluusi bakoowa okulya enva ezikambira ne basalawo okufuna abakyala abalala.

Muwonge yagasseeko nti bakyala baabwe babeera mu ngoye encaafu okumala olunaku lulamba nga kino nakyo kivaako abaami okubula.

Kirya yasabye abatuuze okwewala obwenzi kuba kivuddeko amaka mangi okusasika n’asaba abasajja okugamba ku bakyala baabwe ababeera bakoze ensobi okwetereeza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...