TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Nadduli alumbye bannaddiini abaaatabukidde aba NRM ku kuggya ekkomo ku myaka

Nadduli alumbye bannaddiini abaaatabukidde aba NRM ku kuggya ekkomo ku myaka

By Musasi wa Bukedde

Added 28th December 2017

Nadduli alumbye bannaddiini abaaatabukidde aba NRM ku kuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

Hajinaddulikumukologyeyagugumbuliddebannaddiini 703x422

Hajji Naduli ng'ayogerera ku mukolo kwe yagugumbulidde bannaddiini

BYA SAMUEL KANYIKE

MINISITA atalina mulimu gwa nkalakkalira, Haji Abdul Nadduli alangidde bannaddiini abaasinzidde mu kubuulira ku Ssekukkulu ne bavumirira ababaka olw'okukwata ku Ssemateeka naddala ku kkomo ku myaka gya Pulezidenti n'agamba nti baalaze bunyiivu kuba baabatebuka nga baalina olukwe olusuula Gavumenti ne balulinnyamu eggere.

Yabawabudde bagendere ku bye babuulira abantu nti "teri bukulembeze butava eri Katonda" baleme kuvuma ne bafaanana ng'omuyimbi ayimba oluyimba lw'atamanyi n'asaba abantu Museveni bamwagale bwagazi n'okumuwagira okutuusa Katonda lwalimutta n'agenda kuba bye baliko ssinga baabikola ku mulembe gwa Obote oba Amin ssinga ze mbuyaga ezikaza engoye.

"Babadde n'olukwe olusuula gavumenti eno ng'emabega waabwe waliyo ekirala era okunyiiga olutentezi okuva nga Dec 20 kitegeeza waliyo omugaati gwe twabasuuza ne guva mu kamwa ne gugwa mu kidiba era tebamanyi kiddako", Haji Naduli bwe yagambye.

Yasinzidde Bukalasa e Wobulenzi mu Luweero ku kabaga omubaka omukazi owa Luweero Ying Lilian Nakate ke yakoledde abakulembeze okubayozaayoza omwaka n'okusala entotto mu mwaka omugya n'agamba nti Togikwatako ngombo eriwo leero nga ekya ejja kuvaawo.

ASEKEREDEE ABEESIBA OBUWERO NGA BAWOZA AGENDE

Nadduli yakinagguse nti abakola bino bamala biseera n'abajuliza nti bwe yali akyali mu DP baasibira Obote ssemufu naye teyagenda okutuusa lwe beesogga ensiko ne bakekeza enyago n'awa amagezi abataagala Museveni bave mu by'kusiba obutambaala bakole ekintu kye kimu kyokka nga bakimanyi nti gavumenti eno yajja gawanye era nnywevu nga bajja kubasangayo munsiko babattireyo.

TWAGALA ANADDIRA MUSEVENI MU BIGERE AVE MU BUGANDA

Nadduli yasabye abavubuka mu Buganda okwewala be yayise abali mu kusaaga ne babawabya nga babassaamu ebya "defiance" wabula babeere n'amayisa amalungi era abawulize nga bwe beteekateeka kuba baagala anaddira Museveni mu bigere ave wano mu Buganda

Omubaka wa Katikamu South mu palamenti Edward sembatya Ndawula naye yayambalidde abantu ababaleeteko olujeejeemo olw'okukwata ku ssemateeka babaveeko kuba kye baakoze tebakyajjusa ng'ababaka abajjira ku kaadi ya NRM era n'asekerera abaali bamulaalise mu 2021 nti nakyo bakyongeddeyo bamulinde 2023.

Omubaka Nakate yagambye nti yagikwatako kuba abantu abasinga kye baamutuma wadde waliwo ebitundu 40% abaamugaana okugikwatako n'asaba abantu babeere bakakkamu ku bigenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke