TOP

Maama Fiina adduukiridde gwe baatemye omukono

By John Bosco Mulyowa

Added 29th December 2017

MAAMA Fiina (Sophia Namutebi) adduukiridde Regina Namatovu 35, bba gwe yatemye n’amukutulako omukono.

Ta 703x422

Maama Fiina ( ku ddyo) ng’awaniridde Namatovu eyabadde aggyibwa mu ddwaaliro e Rakai okutwalibwa

Asuman Ssekidde, bba wa Namatovu yazzeeyo mu maka ge okulya Ssekukkulu ng’ava e Kalangala gy’abadde akolera n’amusanga ng’azadde abalongo ekyamuggye mu mbeera.

Abalongo yabatemye n’abatta n’akyukira Namatovu n’amutema ng’abatuuze be baamutaasizza ng’agenda okumutta. Ettemu lino lyabadde Bumogolo mu ggombolola y’e Byakabanda e Kooki mu Rakai.

Maama Fiina olwawulidde amawulire gano n’agenda mu ddwaaliro e Rakai, Namatovu gye yabadde ajjanjabirwa n’alagira assibwe mu ambyulensi atwalibwe e Masaka n’asasula akasenge ak’enjawulo mwe baamutadde.

Yasoose kuwa ab’eddwaaliro obukadde butaano okulaba nga bamuwa obujjanjabi obwetaagisa.

Yasuubizza okubawa obujjanjabi nga bwe bunaaba bwetaagisizza okutuusa lw’anaawona.

Namatovu yatuukidde wa Dr. Mark Jjuko, nga baamusoosezza mu waadi y’abeetaaga obujjanjabi obw’enjawulo.

Yaggyiddwaayo n’atwalibwa mu ssweeta okwongera okwekebejjebwa.

Maama Fiina yategeezezza Bukedde nti bwe yasomye amawulire mu lupapula luno ku ngeri Namatovu gye yatemeddwaamu n’akwatibwako.

“Nze ng’omukyala omuzadde mu butuufu nalumiddwa olw’embeera Namatovu gy’alimu kwe kusitukiramu ne mmuyamba.

Nsaba abakulembeze b’ekitundu kino okuyamba Namatovu kuba beetaaga abantu abalamu okusobola okukulembera obulungi”, Maama Fiina bwe yategeezezza.

Yasabye n’abasajja okwekuba mu kifuba nga tebannatuusa bulabe ku bakazi kuba be bamaama b’abaana baabwe.

Ssekidde akyali ku poliisi y’e Rakai, ng’agamba nti teyejjusa kya kutta balongo n’okutema Namatovu kuba yabadde tasobola kugumiikiriza jjoogo lya mukazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana