TOP

Yezu yazzaawo ekitiibwa ky’omukyala

By Musasi wa Bukedde

Added 31st December 2017

Yezu yazzaawo ekitiibwa ky’omukyala

Pop1 703x422

EVANJIRI ya Yoanna etandika n’ekigambo kya Katonda nga Yoanna agamba nti olubereberye kigambo yabangawo, era kigambo ng’ali mu Katonda. Ye yabanga mu Katonda olubereberye byonna okukolebwa ky’ava ku ye. Kigambo ono Yoanna gw’ayogerako ye Katonda yennyini ensibuko ya byonna.

Ng’atonda olubereberye yayogeranga bwogezi ebitonde ne bibaawo. Bwe yatuuka ku muntu kigambo oyo yafuuka ekifaananyi ne kirabikira mu muntu. Kyokka ekifaananyi ekyo ne kyeyawula ku kigambo.

Ekyo bwe kyabaawo, byonna ne bijjula ekizikiza ng’Omulanzi Yisaaya bw’agamba nti abantu ababadde batambulira mu kizikiza balabye ekitangaala (Yisaaya 9,2-7). Okuva olwo kyali tekinnategerekeka kigambo ki Katonda ky’agenda okwogera! Kigambo kyakulekawo kizikiza oba kyakuzzaawo kitangaala?

Kigambo wa Katonda ajjudde okwagala teyasigala mu kigambo bugambo, naye yazzaawo ekitiibwa ky’omuntu, n’atasigala busigazi mu kifaananyi bufaananyi naye n’afuuka omuntu. Bwatyo Yoanna bw’akomekkereza enjigiriza ye. (Yoanna 1, 1-8) Kigambo wa Katonda ono okuzzaawo ekitangaala yeyambisa muntu oyo yennyini eyaleeta ekizikiza, kigambo yafuuka Adam omupya (Yezu) ate Eva omupya (Maria).

Mu bano bombi, Katonda mwe yaleetera ekitangaala. Obudde buno bwa Eva owookubiri, Biikira Maria, mwe yayita okufuuka omuntu. Ono yakkiriza okulondebwa Katonda amuyitemu, kigambo we afuuke omuntu yaggulirawo ekitiibwa ky’abakyala n’eky’abantu bonna ekyali kyonooneddwa Adam ne Eva. Kino kitegeeza nti mu Biikira Maria, buli mukyala asobola okulondebwa okubeera nnyina w’Omulokozi.

Biikira Maria yalondebwa si kuba nti yali mulungi nnyo, naye Katonda yayagala n’amulonda mu bakazi bonna. Mu mukyala Katonda mwe yayita ffenna n’atufuula abaana be. Awo nno Nnyaffe Maria ffe ng’Abakristu tumussaamu ekitiibwa olw’okulondebwa mu bakazi bonna ne tufuuka wamu ne Yezu abaana be.

Bakristu baganda bange Uganda ekyali mu katyabaga ku bannaffe abaagala okutumalako essanyu n’eddembe nga bakyusa Ssemateeka waffe mu biseera bino ate abamu nga tebakoma kw’ebyo naye ne bavvoola ebifo byaffe ebitukuvu mwetutenderereza Omukama. Tusabe Omukama atuwonye abantu nga bano abalabika nga tebafaayo ku ggwanga wabula okwenoonyeza ebyabwe.

Eno y’ensi ekkiriza era etya Katonda. Awo nno ffenna tusabe nti, “Yezu Mukama twegasse ne Nnyaffe Maria ne tukusinza. Omulokozi w’ensi ekitiibwa n’ettendo bidde gy’oli Amiina. Mbaagaliza omwaka omupya ogw’emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ababaka baweze okusimbira etteeka...

ABABAKA ba Palamenti abava mu Buganda bawadde Katikkiro Charles Peter Mayiga obweyamo nti ba kuyimirira n’abalimi...

Kkooti1 220x290

Ogw’ettemu ly’e Seguku gulindiridde...

OMUSANGO gwa Abdul Mukiibi agambibwa okutta Frank Katumba e Seguku ng’amutebereza okwagala mukazi we, Aisha Mubiru...

Kigandaweb 220x290

Omusumba Kiganda avuddeyo ku bya...

OMUSUMBA David Kiganda owa Christian Focus Centre anenyezza gavumenti okusirika obusirisi netebaako ky’ekola ku...

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.