TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akutte Nnaalongo we mu bwenzi n’amugabira omusiguze

Akutte Nnaalongo we mu bwenzi n’amugabira omusiguze

By Moses Lemisa

Added 2nd January 2018

SSAALONGO akutte owooluganda lwe lubona ng’asinda omukwako ne Nnaalongo! Amumuwadde mu butongole mu lujjudde lw’abantu n'abawa n'eby'omu nju.

Ola1 703x422

Nnaalongo ng’ava mu maka ga Ssaalongo. Yagenze n’abaana baabwe.

Amawano gano gaabaadde mu Kiggundu Zooni e Makerere Kavule mu muluka gwa Makerere iii e Kawempe. Ssaalongo George William Kabuye 32, makanika mu galagi emu ku Jinja Road ye yakiguddeko.

Yavudde ku mulimu n’addayo eka ng’asuubira Nnaalongo okujja amutikkule by’abeetikkidde kyokka kye yalabye alifa akirojja!

Yasanze Nnaalongo we, Juliet Mutesi 30, asinda omukwano ne kizibwe we eyategeerekeseeko erya Ssemweya ng’ono muvuzi wa bodaboda ku siteegi y’oku Kaleerwe.

Kabuye yategeezezza nti bamaze emyaka 10 ne Mutesi era Katonda yabawa ekirabo ky’abalongo nga bombi bawala wabula omu n’abuuka nga kati waliwo Babirye wa myaka musanvu.

Agamba nti azze awulira ehhambo nti mukyala we mwenzi naye nga tabigenderako okutuusa bwe yamwekwatidde lubona ng’asinda omukwano ne Ssemweya ng’ekyasinze okumwewuunyisa Ssemweya mwana wa ssengaawe ng’amuyita Kizibwe! Ng’amaze okubasanga, Ssaalongo yafuze obusungu era talina gwe yakubyeko yadde oluyi.

Yalagidde Ssemweya okugenda ne Nnaalongo n’abawa n’ebintu by’omu nju byonna.

Ssemweya yayanguye okwambala engoye n’akwata kkeesi omwabadde engoye za Nnaalongo n’afuluma nayo n’agisiba ku bodaboda ye.

Yasanze abatuuze bakuhhaanye wabweru kyokka kino tekyamuyigudde ttama. .

Yalaze obumalirivu n’ayambako Nnaalongo okufulumya ebintu omwabadde ekitanda, omufaliso, amasowaani n’ebirala. Yanonye emmotoka okutwala ebintu ng’abatuuze bwe bamuvuma okutabangula amaka ga kkojjaawe ate n’atamwetondera.

Wabula abamu naddala abakazi baalabye Ssemweya amaliridde okutwala Nnaalongo, ne bamulangira obujoozi.

Baakutte amayinja n’emiggo ne bakuba Ssemweya. Paul Kibuuka, akulira ebyokwerinda mu muluka gwa Makerere iii yagenze okutaasa Ssemweya ng’atonnya musaayi.

Ng’ebintu bitikkiddwa ku mmotoka, Kibuuka yakutte Nnaalongo n’amuddusa ng’eno abatuuze bwe bamuwereekereza amayinja. Abamu baamuyisizzaamu empi n’ensambaggere era we yatuukidde ku mmotoka ng’akaaba ga jjulujjulu.

ENTANDIKWA Y’OMUKWANO GWA SSEMWEYA NE NNAALONGO

Ssaalongo Kabuye yali atunda ngatto, omulimu ne gufunamu obuzibu. Yatandika okusiiba awaka nga n’ekyokulya tebalina, kwe kukubira Ssemweya n’amusaba amuyambe ku ssente ezirabirira awaka okutuusa lw’anaafuna omulimu omulala.

Kino kyawa Ssemweya ekyanya n’atandika okugendanga ewa kkojjaawe okubatwalira ssente.

Eno ye yali emmanduso y’enkolagana ya Ssemweya ne Nnaalongo. Ssemweya abadde akoza mu nva za kkojjaawe mu bubba kyokka ng’ennaku z’omubbi bwe ziba 40, zaaweddeko ne bamukwata lubona.

ABATUUZE BALEESE BWINO KU BWENZI BWA NNAALONGO

George William Kamoga: Ffe ng’abatuuze, tumaze emyaka esatu nga tulaba Nnaalongo apepeya n’abasajja abalala kyokka ng’ebimu Ssaalongo bwe babimugamba abiwakanya kuba abadde ayagala nnyo mukyala we.

Ku luno amwekwatidde lubona. Wabula tumusiimye obutatuusa bulabe ku bantu bano naye ng’amazima Nnaalongo abavubuka bangi ku kyalo kino bamuwunzise ennenge omuli abazimbi, aba bodaboda, abasiika capati, abattakisi, abasiiga cutekisi n’abalala.

MWANNYINA WA KABUYE AGAMBA

Harriet Nabuye: Nange nkooye obwenzi bwa mulamu. Aludde ng’alimba mwannyinaze nti agenze mu kusaba okw’ekiro kyokka ng’ali mu basajja be. Atabudde obufumbo bungi ng’aganza basajja ba banne nga tatalizza na baliraanwa. Oba agenda agende.

SSEMWEYA AYOGEDDE

Kituufu ndi mu nsobi. Omukazi nze mmuleetedde obuzibu kale mbadde sisobola kumuleka nga bba amugobye. Nsaba kkojja ansonyiwe. Sitaani ye yankemye naye nga si kye kyali ekigendererwa kyange okuganza mukyala we.

NNAALONGO AKKIRIZZA

Essaawa eno sirina gwe nnyiza kunnyonnyola kituufu n’akitegeera kuba buli muntu omusango agunsalira. Nange seewakana era nzikirizza nti omusango gunsinze.

Ssaalongo angobye mu maka era simunenya kuba ankutte lubona. Ekisinze okunnuma, nswalidde mu maaso g’abaana bange kuba kati bategeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...