TOP

Emmeeri gye bawambye esiikudde owa Korea

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd January 2018

EMMEERI gye bawambye esiikudde Pulezidenti wa North Korea n’alabula Amerika nti egenda kukakasa nti, “Ke babadde bayita akasajja kaafuuka dda essajja ery’amaanyi.”

Mer 703x422

Emmeeri gye baawambye.

Pulezidenti Kim Jong Un mu kiwandiiko kye ekyafulumidde ku mukutu gw’amawulire ogwa North Korea oguyitibwa Korean Central News Agency (KCNA) yasoose kutegeeza nti: North Korea kati ggwanga linnantameggwa era ekyo Amerika ne banywanyi baayo bonna balina okukikkiriza oba baagala oba tebaagala.

Yagasseeko nti: Amerika emazeeko omwaka guno gwonna ng’etusosonkereza naye erina okukitegeera nti teri kintu na kimu ky’eyinza kutukola ne kituggya ku mulamwa gwe tuliko ogw’okugisukkulumako.

Yayongedde okwogera mu bumalirivu nti kye baluubirira kwe kusukkuluma ku Amerika mu by’ekijaasi ne mu byenfuna era nti Amerika eri mu kutya kubanga eraba eggwanga eririmu abantu abassa ekimu era nga bamaliridde okutuuka ku kirooto kyabwe ate nga tebatidde muntu yenna yeekiika mu kkubo lyabwe.

ENGERI GYE BAWAMBYE EMMEERI

Amagye ga South Korea nga gayambibwako Abamerika ge gaakutte emmeeri eyabadde eyolekera North Korea.

Emmeeri eno gye baakutte ku Lwomukaaga yabaddeko bendera y’eggwanga eriyitibwa Republic of Panama.

Eggwanga lino lyetooloddwa eriyanja Pacific ne Caribbean Sea. Omukutu gwa Reuters gwategeezezza nti emmeeri eno eyawambiddwa yabadde etisse ttani z’amafuta 5,100 ze yabadde ekukusa okutwala mu North Korea.

Emikutu egimu gyasoose kutegeeza nti eno mmeeri ya North Korea eyabadde etumiddwa okukima amafuta mu bizinga by’e Panama era ne bagiteekako bendera ya Panama mu lukujjukujju okubuzaabuza ab’ebyokwerinda abalawuna ennyanja.

Kyokka gavumenti ya Panama yayanguye mangu okutegeeza nti emmeeri yaabwe era baagituuma n’erinnya “KOTI” kyokka tebaalambuludde ku ‘misoni’ emmeeri eno gye yabaddeko.

Emmeeri eno baagikwatidde okumpi n’omwalo gw’e Pyeongtaek- Dangjin oguli ku ludda lwa South Korea era yabadde ebalaamiriza okudda ku ludda lwa North Korea.

Ekyasinze okwewuunyisa abaagikutte kwe kusangako Abachina abangi ennyo mpozzi ne bannansi ba Myanmar (eyali eyitibwa Burma) era omukutu gw’amawulire ogwa South Korea Yonhap News Agency gwategeezezza nti kino kyalaze nti ‘misoni’ y’emmeeri eno yabaddemu abantu bangi nga kiteeberezebwa nti bendera ya Panama yakozeseddwa bukozesebwa.

Oluvannyuma lw’okukwata emmeeri eno, ekyaddiridde ye Pulezidenti Kim okufulumya ekiwandiiko ng’alumba Amerika ne South Korea; kyokka mu kiwandiiko yeewaze okukoona ku mmeeri eyawambiddwa.

Wabula abamu ku bakungu ba Amerika baasinzidde ku ttivvi ya CNN ne bategeeza nti kiri mu ggiraasi nti ekyogeza Pulezidenti Kim ebikankana ye mmeeri eyakwatiddwa ng’ebalaamiriza okugenda mu North Korea.

Eno ye mmeeri eyookubiri okuwambibwa amagye ga South Korea nga gayambibwako abaserikale ba Amerika naddala abali mu kitongole ekikessi.

Baasoose kukwata mmeeri ya Hong Kong eyitibwa Lighthouse Winmore eyabadde etwala amafuta ttani 600 egateeka mu mmeeri ya North Korea eyitibwa “Sam Jong 2”.

Kigambibwa nti China y’eyabadde emabega w’emmeeri eno eyasoose okuwambibwa, era amangu ddala ng’amawulire gasaasaanye wiiki ewedde, Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter n’ategeeza nti China bulijjo yeegaana okukukuta ne North Korea naye ku luno bagikutte lubona.

Omwaka gwe tukomekkerezza, olukiiko lw’amawanga amagatte lwateeka nnatti ezikugira eggwanga lyonna okusuubulagana ne North Korea nga bagibonereza olw’okugezesa ebyokulwanyisa bya ‘Nukiriya” eby’obulabe eri ensi yonna era nga baagala ekkirize bisaanyizibwewo; ekintu Pulezidenti kye yawakanyizaawo.

Pulezidenti Kim mu bubaka bwe yawadde yayongedde okuboggola nti teri nnatti yonna gye bayinza kubassaako n’ebalemesa ekiruubirirwa kye baliko okufuuka nnantameggwa.

Amerika, South Korea n’abamu ku batuula ku lukiiko lw’amawanga amagatte baabadde balumirizza Russia nti nayo eri mabega w’okuguza North Korea ebyamaguzi mu nkukutu; kyokka Russia ng’eyita mu Minisitule y’ensonga z’ebweru baafulumizza ekiwandiiko nga beesammula okuguza North Korea ebyamaguzi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.