TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eppeesa erisaanyaawo Amerika lindi mu ttaano - Kim owa N. Korea

Eppeesa erisaanyaawo Amerika lindi mu ttaano - Kim owa N. Korea

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd January 2018

PULEZIDENTI wa North Korea, Kim Jong Un agambye nti eppeesa erinasula bbomu ya Nukiriya yalisembezza ku mmeeza kw’atuula era abamusosonkereza ekyo balina okukimanya.

Sanya 703x422

Kim Jong Un, owa North Korea ng’ayogera eri bannansi bwe yabadde ku ttivvi y’eggwanga.

Yalabudde Amerika nti bw’eyongera okubacookooza eyinza okwejjusa kubanga asobola okubakola kye balifa tebeerabidde.

Yagambye nti buli kaseera atunuulira eppeesa eritulisa bbomu nnamuzisa n’alowooza okulinyiga asaanyeewo Amerika n’amawanga amalala kyokka ekisa ne kimukwata n’abaleka bagira beemoola.

Wabula n’alabula nti akadde k’okumwemoolerako kagenda kaggwaayo.

Yagambye nti ssinga bongera okumusosonkereza, waakulinyiga abakakase nti Amerika tesobola kumuggulako lutalo n’eruwangula. Kim bwe yabadde awa obubaka bw’omwaka omuggya 2018 era yasinzidde ku ttivvi y’eggwanga n’agamba nti bw’afunya ekikonde, Amerika agirabira mu kikonde kye era teyinza kumutiisa.

Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yabadde ayingira Mar-a-Lago Resort mu kibuga Florida ne bamutegeeza Kim bye yayogedde era yasoose kuseka mu ngeri ey’okulengezza n’agamba nti “tujja kumulaba”.

Kyokka oluvannyuma yagambye nti ebigambo bya Kim tebabitunuulira nga bya lubalaato kubanga ye muntu gwe balaba ng’asobola okukola ekintu kyonna nga talowoozezza ku biyinza kuvaamu.

Kim olwamaze okulabula Amerika, n’adda ku South Korea n’agamba nti asobola okukkiriza ne bafunawo enteeseganya basobole okukolera awamu kyokka tayinza kukkiriza kwogera ne South Korea ng’awalirizibwa ejjoogo lya Amerika.

Yasuubizza nti alina okuweerezaayo ababaka mu Februry mu Winter Olympics mu kibuga Seoul balabe kye bayinza okuzzaako.

W’aviiriddeyo okukkiriza okuteesa ne South Korea, nga wiiki ewedde Amerika yayitidde mu South Korea ne bawamba emmeeri eyabadde eva mu Republic of Panama ng’etisse amafuta ttani 5,100 ge yabadde ekukusa okugayingiza mu North Korea.

Wiiki ewedde Trump yatabukidde China ng’aginenya okuguza North Korea amafuta, ekintu ekikontana n’obukwakkulizo obuli mu nnatti ezaagissibwako ekibiina ky’amawanga amagatte.

Ebisasamaza ensi n’okutiisa Amerika, mu November omwaka oguwedde North Korea yafulumizza Mizayiro n’etegeeza nti basobola okusinziira ewaabwe ne bagikuba n’egwa e Washington DC mu Amerika.

Embeera eno evudde ku North Korea okujja ng’egezeza ebyokulwanyisa nnamuzisa mu kiseera ekiyise, ekitadde amawanga ag’enjawulo ku bunkenke ne gavaayo okugivumirira.

Mu November baagezesezza mizayiro Hwasong-15 esobola okubuuka mu bbanga mayiro 2,780 ekivvoola amateeka agafuga obwengula kubanga eno yakubisizzaamu emirundi 10 okusukka ekigero we balina okukoma.

Pulezidenti Moon Jae-in owa South Korea yagambye nti ekisuubizo ekyakoleddwa Kim okusindika ababaka mu Olympics kiyinza okubawaliriza okuyimiriza ku nteekateeka ze babadde nazo ne Amerika okulaba oba basobola okukozesa emmundu okumukkakkanya okutuusa ng’emizannyo gya Olympics giwedde.

Kim yagambye nti bwe kituuka ku nkolagana ya North Korea ne South Korea, awo asobola okukkakkanya ku ddoboozi ne basobola okwogera mu mirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako...

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako obulago

Full1 220x290

Abawagizi ba Kenzo beesunga kumwaniriza...

ABAWAGIZI ba Eddy Kenzo ab'omunda, leero basiibye beetala nga beetegekera okumwaniriza.

Blackwomancrying 220x290

Embeera ezireetera omukazi okuyungula...

Abakazi abo tobalaba kukaaba nga bali mu kikolwa n'olowooza nti beekaabya! Nedda, oluusi baba mu bulumi olw'embeera...

Deb1 220x290

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko...

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko obulemu

Pregnantworried1 220x290

Kandida taakose bbebi?

Ssenga bwe nafuna olubuto kandida yagaana okugenda, nkoze ntya, kubanga kati buli kiseera mbeera mu kwetakula olwa...