TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gravity akubye maneja wa Daxx Kartel eng’uumi mu Nkuuka

Gravity akubye maneja wa Daxx Kartel eng’uumi mu Nkuuka

By Josephat Sseguya

Added 2nd January 2018

ENGUUMI enyookedde mu Nkuuka y’omwaka mu Lubiri e Mmengo omuyimbi Gravity Omutujju bw’aggunze maneja wa Daxx Kartel ekikonde ekimugye ku siteegi n’agwa mu bawagizi ng’amulanga kuggyako byuma bwe yabadde ayimba.

Kartel 703x422

Maneja Eddie Muwonge yalinnye ku siteegi ku ssaawa ssatu ez’ekiro nga Gravity Omutujju ayimba oluyimba lwa Winner ebyuma ne bivaako omulundi gumu.

Gravity agenda okukyuka okutunula ewa DJ, amaaso yagakubye ku maneja Eddie ng’ali ku byuma n’amulumba n’amwokya ekikonde ekyaddiridde akavuyo ng’ekibinja kya Gravity kirwanagana n’ekya Daxx Kartel.

Baabizzizzaako n’addamu okuyimba era bwe yamaze, Gravity yeegayiridde Muwonge amusonyiwe kyokka aba Daxx Kartel ne babigaana era olutalo ne luddamu olwo Gravity n’adduka n’adda ku siteegi n’asangako Lyto Boss ng’ayimba abataasoose kumanya nti olutalo lukyagenda mu maaso ne beewuunya ekimuzzizza.

Poliisi yazze n’ebataasa n’etwala Gravity ku mmotoka ye n’ekibinja kye olwo Daxx Kartel eyayimba Bakuzaala mu bbaala naye n’alinnya ku sitegi n’ayimba.

Abaabadde ku siteegi baatutegeezezza nti Eddie yasoose kuyomba ng’agamba nti balina ekivvulu ekirala kye bagenda okuyimbiramu ng’ate Gravity alemedde ku siteegi.

Yalabye abategesi baagala kuzzaako Winnie Nwagi gwe baasoose okutuuka kwe kugenda mu byuma ateekeyo CD ya Daxx Kartel ebyuma ne bivaako.

Enkuuka yategekeddwa Abtex Promotions.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans