TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Br Ronnie alaze abagoberezi be ne Gavumenti eky'okukola mu 2018

Br Ronnie alaze abagoberezi be ne Gavumenti eky'okukola mu 2018

By Meddie Musisi

Added 2nd January 2018

Br Ronnie alaze abagoberezi be ne Gavumenti eky'okukola mu 2018

Br1 703x422

Br Ronnie ng'abuulira mu kiro ekimalako omwaka

BRO.RONNIE Makabai owa Etm Church asabye abagoberezi ba Kristu okusaba ennyo omwaka guno ogwa 2018 Katonda awugule omuyaga gw'ebyobufuzi okuyinza okuvaako obutabanguko mu ggwanga ne mu mawanga amalala.

Bro. Ronnie ebigambo bino yabiyisizza mu bubaka bwe bweyawadde mu kusaba kw'okuyingira omwaka 2018 okwabadde ku Church ye eya Evangelical Truth ministries (Etm)esangibwa e Bwerenga Ku lwe  Entebbe.

Br Ronnie ategeezezza nti amaze omwezi Mulamba mu kusaba nti naye Katonda amulaze amayengo g'ebyobufuzi mu mawanga mangi nga ne  Uganda mweri nti n'olwekyo abantu basaana okwesabira ennyo wamu n'okusabira eggwanga lyaffe

Wakati mu nkuyanja y'abantu abeetabye mu kusaba kuno, Ronnie yakikkaatirizza nti nti tewali ngeri ndala yonna gye bayinza kuyitamu kutaasa butabanguko buyinza kubalukawo olw'embeera y'ebyobufuzi okuggyako okwekwasa Katonda n'okwenyigira mu kusabira ago gonna amawanga agayinza okufuna obutabanguko.

Omusajja wa Katonda ono Br Ronnie ajjukirwa nnyo olw'obunabbi bw'azze awa omuli okufa kwa Gadafi, ssaako ne Nelson Mandela,wabula nga kumulundi guno akubiriza abantu okwenyigira ennyo mu by'obulimi by'agambye nti by'ebyokka ebigenda okuggya eggwanga mu bwavu n'okulwanyisa enjala.

Ronnie mu ngeri yeemu asabye Gavumenti okufuba ennyo okutondawo enkolagana ennungi ne bannaddiini bagiyambeko mu kaweefube wookulwanyisa obwavu mu bantu  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima