TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni asiimye Fr. Bikwasizeki : 'Bannaddiini abalala mulabire kw'ono'

Museveni asiimye Fr. Bikwasizeki : 'Bannaddiini abalala mulabire kw'ono'

By Ali Wasswa

Added 3rd January 2018

PULEZIDENTI Museveni asinzidde mu mmisa y'olusooka omwaka mu kigo ky'e Rubindi mu ssaza Kashari n'asiima Fr. Felix Bikwasizeki okubeera omusajja omukozi era akolera enkulaakulana ng'asobodde okusitula ekigo kino n'Abakristu ate nga taboola bantu balala abatali Bakatoliki.

Dsebcaswsae57rbjpglarge 703x422

Pulezidenti Museveni ne Fr. Bikwasizeki (ku kkono).

Museveni yagambye nti, ye ng'omuntu yalaba Faaza nga mukozi era asobodde okukyusa n'emiruka egimuliraanye abantu ne bagoba obwavu.

Yamutenderezza okumaliriza Klezia y'e Rubindi ku bukadde bwa ssente 650 zokka kyokka ng'omulimu gwe gumu singa gubadde gukoleddwa Gavumenti gwandibadde mu buwumbi.

Yagambye nti kino kiva ku ngaba ya ttenda ne bongeramu ensimbi.

Yasiimye Fr. Bikwasizeki okukolera mu kifo ekitono n'ateekako emmwaanyi, olusuku n'okulundirako ente n'embizzi n'ategeeza nti, ono kyakulabirako era agenda kumuyamba okwongera amaanyi mu nkulaakulana.

Fr. Bikwasizeki yasabye obukuumi, emmotoka n'okuzimba Grotto ya Bikira Maria era Museveni n'asuubiza okumuyamba.

Museveni yasiimye n'omubaka Yaguma Rutashokwa (Kashari North) okubeera omugonvu mu NRM.

Fr. Bikwasizeki y'omu ku basitudde ebyenfuna mu miruka okuli Ngongo, Kibingo ne Mugarusha n'ategeeza nti, asiima byonna abakulembeze bye bamuwa naye yeetaaga okuyambibwa okulaba ng'essomero lyabwe lifunirwa ekizimbe mwe bagezesereza amasomo ga ssaayansi, n'abaserikale kubanga ababbi bangi.

Ekitambiro kya Mmisa kyayimbiddwa omuyambi wa Ssaabasumba w'essaza ery'e Mbarara Bp. Lambert Bainomugisha.

Museveni yawerekeddwaako mukyala we Jannet Museveni, muwalawe Natasha ne bba Edwin Karugire ne bazzukulu be. Ku mukolo gwe gumu kwe bagguliddewo klezia eno n'okugatta emigogo gy'abagole 134.

Abalala abeetabye mu Mmisa eno kwabaddeko ababaka Jovilin Karisa (mukazi Ibanda), Nathan Itungo (Kashari South) ne Ying. Charles Ngabirano (Rwampara).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...