TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura alagidde abaserikale bonna mu Kampala okuddamu okutendekebwa

Kayihura alagidde abaserikale bonna mu Kampala okuddamu okutendekebwa

By Eria Luyimbazi

Added 3rd January 2018

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura alagidde abasirikale bonna abakolera mu Kampala n'emirirwano okuzzibwayo lutali luno batendekebwa buto bafune obukugu obwenjawulo.

Kigo5 703x422

Gen. Kayihura ng'aliko by'agamba abasirikale okuli; Frank Mwesigwa ku ddyo n'abalala bwe yabadde e Kigo ku Ssande

Kino kiddiridde Gen Kayihura okusooka okufulumya abasirikale 504 abaabadde mu kutendekebwa e Kigo era n'abasisinkana enfunda bbiri ku nkomerero ya December 2017 n'alagira nti bonna abatannatekedebwa basindikibwe mu ttendekero mu bwangu.

Okuteeka ekiragiro kya Gen. Kayihura mu nkola, omuduumizi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano, Frank Mwesigwa yasunsuliddewo abasirikale 500 okuva ku poliisi ssatu ne batwalibwa e Kigo okutendekebwa.

Mu nkyukakyuka eno, abasirikale bonna 175  ababadde bakolera ku poliisi ya CPS mu Kampala baggyddwawo ne basikizibwa abapya abaavudde mu kutendekebwa. Bano beegatiddwako abalala abaggyiddwa ku poliisi ya Kampalamukadde ne Katwe.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano, Luke Owoyesigire yagambye nti okutwala abasirikale bonna okuva ku CPS kyagendereddwamu obutabatabika nabo abaamaze okutendekebwa kuba bayinza okulemererwa okukola obulungi emirimu gyabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rem1 220x290

Omusaj ja asse muganda we gwe yasuze...

Omusaj ja asse muganda we gwe yasuze naye mu nnyumba

Jangu3 220x290

Opa Fambo abala kaki n'Abazungu?...

Opa Fambo abala kaki n'Abazungu?

Bes1 220x290

Abafumbo babattidde mu nnyumba...

Abafumbo babattidde mu nnyumba

Tip1 220x290

Rema akangudde ku Doboozi agambye...

Rema akangudde ku Doboozi agambye kati mukazi eyetengeredde atakyalina ky'atya

Mugumu0 220x290

Omuyizi afiiridde mu kisulo ky'essomero...

OMUYIZI wa S.5 afiiridde mu kisulo ky'essomero e Mpigi poliisi n'ekunya abasomesa lwa kusanga nga balongoosezza...