
Kizza ku ddyo ng'alaga ezimu ku nnamba puleeti z'emmotoka z'abadde abba ku bannyini mmotoka n'amala n'abasaba ssente
BYA REGINAH NALUNGA
Okumukwata, abadde atwala akapapula okuli ennamba y’essimu ye mu maka gye yabbye nnamba puleeti.
Ennamba y’essimu eno kw’alagira b’abbyeeko nnamba puleeti okusindikako ssente alyoke agibaddize! Hassan Ssekitoleko 20, omutuuze w’e Maganjo ku Lukadde aludde ng’anoonyezebwa poliisi ku bubbi bwa nnamba puleeti ye yakwatiddwa.
Ssekitoleko yasooka kuyingira mu kikomera ekimu n’asumulula nnamba puleeti UAU 801A ku mmotoka ya Hassan Hushan n’eya Vincent Kizza nnamba UAW 797T ab’e Jinja Kalooli.
Okuva lwe yabba nnamba puleeti zino abadde ateeka Kizza ne Hushan ku nninga bamuwe ssente abalagirire ekifo we yateeka nnamba puleeti z’emmotoka zaabwe.
Kizza, omukozi mu kitongole ky’obwannakyewa ekya PACE, yategeezezza nti, “Tuludde nga twemulugunya ku bubbi bwa nnamba puleeti mu kitundu kyaffe naye nga tetulina gwe tukwata kyokka ng’omuntu atubba alekawo ennamba y’essimu y’emu eri ku 0704431635.
Asaba ssente eziri wakati wa 50,000/- ne 100,000/- okutulagirira nnamba puleeti zaffe we ziri.
Yagambye nti nnamba puleeti ye n’eya muliraanwa we Hushan zabbiddwa mu biseera by’ennaku enkulu ne baggulawo emisango ku fayiro nnamba SD:REF 25/28/12/2017 ne SD:REF 20/28/12/2017 ku poliisi ye Kawempe.
Abatuuze balumirizza Ssekitoleko okuba mu kibinja ky’abamenyi b’amateeka abaabamazeeko emirembe mu biseera by’ennaku enkulu.
Ng’ali ku poliisi, Ssekitoleko yakkirizza okubba nnamba puleeti ku mmotoka z’abantu n’agamba nti abadde yaakabba nnamba puleeti ttaano.
Oluvannyuma yakulembeddemu poliisi n’abatwala mu bifo gy’abadde akweka nnamba puleeti z’abbye.
Yabawadde n’olukalala lwa banne ababba nnamba puleeti ku mmotoka n’asaba poliisi emusonyiwe kubanga yababuulidde amazima n’atabatawaanya. Poliisi yamuggalidde ng’alindiridde kutwalibwa mu kkooti.