TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Byakoma wa?Abakuba abantu amasasi emmundu baziggya wa!

Byakoma wa?Abakuba abantu amasasi emmundu baziggya wa!

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2018

Byakoma wa?Abakuba abantu amasasi emmundu baziggya wa!

Lap1 703x422

Omukono gwa Ssengonzi, gwe baakuba amasasi.

EMMANUEL Kasozi atambula olubuto alusabise! Amasasi ge baamukuba ku Ssekukkulu ya 2015 gaamulekera ebisago ebyagootaanya obulamu bwe. Nga tannasimbula waka, asooka kwezingirira ppamba ku lubuto ne yeesiba n’anywera. “Bwe simala kwesiba bwentyo, gye ndanga nnyinza obutatuuka, ne nsibira mu ddwaaliro.” Kasozi abeera e Lweza mu Zooni B ku luguudo lw’e Ntebe bw’akkaatiriza. Newankubadde amasasi ge baamukuba emyaka ebiri egiyise baagamulongoosaamu, naye gaaleka gamuyuzizza olubuto.

Okuva lwe yakubwa amasasi, embeera yamuddugaalirira anti n’abaana tebakyasoma kuba ezandibaweeredde ate z’akozeesa okwejjanjaba. Poloti, pikipiki ne bizinensi ezaali zivaamu ensimbi zonna zaatundibwa okusasula ebisale by’eddwaaliro ebyali bikunukkiriza obukadde 17, bwatyo Kasozi n’asigala ng’abaavu nabo bamuyita mwavu mpongabyoya!

ABANKUBA AMASASI BAALI MU BYAMBALO BY’AMAGYE Kasozi olwamubuuzizza ebyamutuukako, yasoose kubulira mu birowoozo. Oluvannyuma yabbuludde amaaso nga bw’anyeenya omutwe, neyeekuhhaanya n’atandika okuttottola ebyaliwo nga December 25, 2015 bw’ati: Mukazi wange yansaba Ssekukkulu y’omwaka ogwo mukkirize agiriire mu kyalo n’abaana era saakirabamu buzibu ne mukkiriza n’agenda. Awaka nasigalawo nzekka era olunaku lwali lutambudde bulungi okutuusa ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ebintu lwe byatabuka.

 

Engeri gye nnali nsigadde nzekka awaka, nnasalawo ne ku lunaku olwo nkole kuba mu nnaku enkulu omulimu gwaffe ogwa bodaboda gubeera gufuna! Nnali ntuuse essaawa ezinnyuka, ne wabaawo kasitoma wange ow’olulango eyankubira essimu ng’ayagala mutwaleko. Nga nnaakatuukawo, nali nsimba pikipiki amasasi gaatandika okuvugira okumpi ne we nnali ngisimba. Abaali bagakuba baali bagoolekeza edduuka lya ‘Mobile Money’ erya Charles era lyamukwata ne limuyuza omukono.

Wakati mu masasi okuvuga, nagezaako okudduka, kyokka saamanya nti waaliwo omusajja eyali mu mbiriizi era oyo ye yankuba amasasi. Amasasi abiri gaakwata mu lubuto ate eryokusatu ne linkuba ekigere. Abasajja bonna abaatukuba amasasi baali mu byambalo by’amagye. Bwe nnalaba okufa kutuuse, nnasalawo okwekulula era bwe nnatuuka mu mmita nga 20 ne nziramu okudduka.

Nakizuula ng’ebyenda byali bivuddeyo kye nnakola kwe kubikwata mu ngalo nga nkozesa emikono ebiri ne nnyongera okudduka. Wabula amaanyi ganzigwamu ne ngwa nga bwe mpita abantu banziruukirire.

Abaakuhhaana banteeka ku pikipiki ne banzirusa mu ddwaaliro, tuba twakavugako katono, pikipiki yankuba mu mwala era nneekulula bwekuluzi okugubuukamu. Nneewalula bwewaluzi okwetuusa ku kalwaliro akaali kaliraanyewo, okuddamu okutegeera ebiri ku nsi nga ndi mu ddwaaliro e Nsambya gye nnamala emyezi ebiri ku bujjanjabi.

Omwogezi wa UPDF mu ggwanga Brig. Richard Karemire yagambye nti, emirundi mingi abazigu bafuna ebyambalo ebifaanana eby’ekijaasi okutiisatiisa be baagala okubba n’okubuzaabuza ab’ebyokwerinda naye nga si bajaasi.

 

ABAAKUBA KASOZI AMASASI BAABULIRA WA?

Wadde ekimu ku bisawo ebyalimu amasimu, abazigu kye baali banyaze mu dduuka lya ‘Mobile Money’ kyazuulwa, wabula abazigu tebaakwatibwa. Kigambibwa nti baakisuula mu kkubo nga badduka. Baali mu mmotoka ey’ekika kya Mark II era mu kudduka baayita mu kkubo ery’ettaka erisomoka okugwa e Kigo.

Poliisi y’e Kajjansi yagenda okutuuka, nga baabuzeewo dda. Kasozi agamba nti, poliisi teyabayamba kuba nti yamala kuva mu ddwaaliro n’alyoka agenda ku poliisi okukola siteetimenti.

Wadde poliisi egamba nti, baagenda mu ddwaaliro okuggya ku Kasozi siteetimenti wabula ne basanga nga tannadda ngulu, kyokka abantu ba Kasozi, balumiriza nti teri wa poliisi yenna yatuukako mu ddwaaliro. Kasozi agamba nti ne lipoota ya poliisi gye yali yeetaaga agitwale mu bbanka okumatiza yinsuwa esasule ebbanja lye yali yeewozeeyo nga tannafuna buzibu, nayo abapoliisi baagimumma era n’amaliriza nga n’ebbanja lya bbanka alisasulidde mu bulwadde! Ekisinga okumuluma kwe kuba nga mu myaka ebiri, talabangayo kabonero konna kamuzzaamu ssuubi nti abaamukuba amasasi baalondoolwa oba bayinza okukwatibwa.

Embeera enzibu yonna mw’ayita eyatuusizza n’abaana obutagenda mu ssomero omwaka gwonna, agiteeka ku basajja abaamukuba amasasi ne bakosa obulamu bwe n’enfuna. Yali alagiddwa okuddayo mu ddwaaliro e Nsambya okuddamu okulongoosebwa omulundi ogwokubiri wabula ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde butaano bwe zaamulema okufuna n’ataddayo.

Kati ali mu kuzisonda kyokka yeetaaga okuyambibwa kuba takyalina nnyingiza etegeerekeka, n’ebyetaago by’awaka byonna bitunuulidde ye. Kasozi yaddamu okuvuga bodaboda okunoonya ez’obujjanjabi wabula asooka kwesabika lubuto okwewala okusajjula embeera.

Yeewuunya abantu abaamukuba amasasi gye baggya emmundu ze baakozesa ate ne wabulawo alondoola okuzikwata zireme kutuusa bulabe ku bantu balala.

 ugerwa baamukuba amasasi nafa Mugerwa baamukuba amasasi n’afa.

 SSENGONZI BAAMUKUBA MUKONO

Kasozi tali yekka mu banyiga ebiwundu by’amasasi. Shemmy Ssengonzi ow’e Kyamula –Ttakajjunge ku ludda e Salaama naye baamukuba amasasi nga September 2, 2016, omukono gwa ddyo ne bagusesebbula. Ssengonzi yali adduukiridde “Landiroodi” we Vianne Mugerwa 40, abazigu gwe baali balumbye ekiro ekyo ku dipo ye eya bbiya ku lw’e Salaama.

Mugerwa yafa baakamutuusa mu ddwaaliro e Mulago kyokka Ssengonzi n’asimattuka. Agamba nti yeetegereza omu ku basajja eyamukuba amasasi era bwe yamala okusiibulwa mu ddwaaliro n’addamu n’amusisinkana mu kkubo.  Oluvannyuma yakizuula nti omusajja ono ye Wizagye akola nga “Crime Preventer” ku poliisi y’e Nsambu mu Makindye.

Ssengonzi agamba nti, azuuzumbye n’omusango guno era yatuuka n’okutwala okwemulugunya ku ofiisi ezikwasisa abapoliisi empisa nga yeemulugunya ku baserikale abamu ku poliisi y’e Katwe abaali bakutte obubi omusango guno. Nti wadde yassaayo okwemulugunya okwo, era teyayambibwa kuba omusajja bwe yakwatibwa yamala akaseera katono n’ayimbulwa.

Ssengonzi agamba nti eky’omusajja ono okubeera “Crime Preventer” akola ne poliisi kye kimu ku bimuwadde enkizo obutavunaanibwa.

POLIISI ENNYONNYODDE Omwogezi w’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Vincent Ssekate yannyonnyodde nti, emisango gy’okukozesa emmundu tegitera kubeera myangu kunoonyerezaako kuba abagyenyigiramu basooka kwetegeka nnyo. Olumu abakubye abantu amasasi badduka ne batalekaawo bujulizi buyinza kutandikirwako ne kikaluba okuzuula emmundu gye baba baziggye.

Wabula enfunda ezimu bagoba obuufu ne batuuka ku bazigu ne babakwata. Yagambye nti olumu wabeerawo alumiriza nga bwe kiri ku musango gwa Ssengonzi, nti kyokka nga tewali bujulizi bulala bujjuliriza kulumiriza okwo era okuggusa omusango ogwo kukaluba okutuusa ng’obujulizi obwo butuukiddwaako. Wizagye gwe balumiriza naye abyesammula era yategeezezza Bukedde nti, yasanga Ssengonzi mu kkubo n’amusaasira olw’obuzibu bwe yali afunye era n’amusuubiza okumuyambako mu kugoberera omusango, kyokka yagenda okuwulira nga Ssengonzi amwezinzeeko nti ye yabakuba amasasi!

EYALI ABBISA EMMUNDU AYOGEDDE GYE ZIVA Paddy Sserunjogi amanyiddwa nga Sobi yagambye nti nga tannaba ‘kulokoka’ kuva mu bya bubbi omwaka oguwedde, emmundu baazifunanga mu ngeri nnyingi kyokka esinga okwanguwa y’ey’okuzipangisa okuva ku bakuumaddembe!

Sobi yagambye nti, bwe yava mu by’obubbi, yakizuula ng’omuze gw’abaserikale abakolagana n’ababbi ne babapangisa emmundu gukyagenda mu maaso era abamu n’abaloopa mu bakama baabwe. “Omuserikale wa poliisi omu twamulinnya akagere ne tumukwatira e Njeru gye yali apangisizza emmundu ne tumukwata n’ababbi be yali agipangisizza. Wabula ekyammalamu amaanyi ate kwe kuyimbulwa kw’omuserikale oyo mu ngeri etetegeerekeka!” Sobi bwe yalambuludde.

Waliwo lwe baamukwata (Sobi) era n’alumiriza omu ku boofiisa ba poliisi ali ku ddaala lya AIGP nti akolagana n’ababbi, wabula ofiisa oyo yabyegaana era n’asigala ku mirimu gye. Sobi agamba nti, okukwata abamu ku baserikale mu poliisi abagambibwa okukolagana n’ababbi ky’ekiyinza okukendeeza ku ngeri emmundu gye zikozesebwa obubi. Yagambye nti abamu bakozesa ofiisi zaabwe ne bagabira abantu emmundu ezitaliiko layisinsi.

Emmundu endala yagambye nti baziggya mu babbi bennyini ababeera bakwatiddwa wabula ne bazisirikira era bwe babasiba ne bakola ddiiru ne basibe bannaabwe ababeera baayimbulwa ne babalagirira emmundu we baba bazikukulidde era nga waliwo omutemwa gwe balina okusasula eri nnannyini mmundu (omubbi) era ssente ezo bazisasula buli mwaka! Kyokka waliwo n’abasasula ssente omulundi gumu, olwo emmundu n’efuuka yaabwe ne batandika okugibbisa n’okugittisa abantu.

Sobi yagambye nti, mu ‘misoni’ zonna ze yakolanga ne banne baasookanga kufuna banene mu poliisi abanaabayambangako okuyimbulwa era abazigu kumpi bonna abakozesa emmundu balina abanene abafuba okulaba nti ‘ababbi’ tebakwatibwa! Ate ne bwe baba bakwatiddwa, bayimbulwa mangu nga tebannaboogeza bingi kutuuka ku banene be bakolagana nabo.

Yagasseeko nti n’okubalondoola kyabeeranga kizibu kuba baafunanga “Magaziini” z’amasasi ezaabwe ne bapangisa emmundu ku muserikale ne bagissaako “magaziini” etamanyiddwa mu biwandiiko bya poliisi.

Bwe baakolanga ekyo, bambega nga ne bwe bazuula ebisosonkole by’amasasi ebiba bisigaddewo, tebasobola kubyesigamako kutuuka ku mmundu yakozeseddwa. Ssekate yagambye nti, wadde mu bitongole ebikuumaddembe mulimu abaserikale abava ku mulamwa ne beekobaana n’ababbi, kyokka abo batono nnyo era bafubye okubalwanyisa. Yagasseeko nti bakizudde ng’emmundu nyingi ezikozesebwa mu buzigu ezisinga baziggya mu mawanga agaliraanye Uganda naddala agalimu obutabanguko nga South Sudan, Somalia ne D.R. Congo.

David Fred Egesa eyakolerako mu kitongole kya poliisi ekikessi kyokka nga kati yeekozesa yekka mu kkampuni ya Missing Link, yagambye nti, obuzibu bwonna bwatandikira ku kuggyawo kitongole kya Special Branch ekyabeganga abaserikale ba poliisi n’engeri gye bakozesa emmundu eziba zibaweereddwa.

Ssekate agamba nti, bwe baggyawo ekitongole ekyo bassaawo Crime Intelligence ekola emirimu egyali gikolwa Special Branch era n’agumya abantu nti aba poliisi n’emmundu ezibakwasibwa birondoolwa era bafuba okulaba ng’abazikozesa obubi bavunaanibwa.

Egesa agamba nti n’emmundu ezikozesebwa ab’ebitongole by’obwannannyini ebikuuma abantu (Security companies) nabyo byetaaga okulondoolwa kuba ababikolamu bangi basasulwa bubi ate ne baweebwa ekissi olumu kye bakozesa okunyaga n’okutta abantu. Obungi bw’emmundu eziri mu ggwanga butankanibwa, kyokka mu 2016, eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi (yattibwa n’emmundu mu March 2017) yagamba nti, emmundu ezaagabwako layisinsi nga ziri mu mikono gy’abantu ssekinnoomu ziri 19,000. Egesa agamba nti, emmundu ezaagabwako layisinsi tezitera kutuusa bulabe ku bantu kuba abazirina bakimanyi nti zirondoolwa, kyokka ezisinga okuba ez’obulabe zeezo ezitalina bizoogerako.

ETTEEKA LY’EMMUNDU LIRI LUDDA WA NG’ABANTU BATTIBWA?

Mu 2003 Minisitule y’ensonga z’omunda yassaawo ekitongole ekikola ku by’emmundu entonotono ekyatuumwa Uganda National Focal Point on Small Arms and Light Weapons. Ekitongole kino mu 2012 kyafulumya ekiwandiiko omuli Enkola empya (Policy) gye baagala egobererwe mu kukyusa etteeka 299 erifuga emmundu eryakolebwa mu 1970 nga bagamba nti, etteeka eryo lyali lyetaaga okulongoosebwa okutuukana n’embeera eziriwo wabula etteeka ekkadde lye likyakozesebwa.

Ebimu ku bye baanokolayo ebyetaaga okukyusibwa by’ebibonerezo ebinafu ennyo ebirimu. Mu katundu 12 ak’etteeka erifuga emmundu, omuntu apangisa, okutunda oba okukola ddiiru y’emmundu, etteeka liragira asibwe ebbanga eritasukka myaka etaano oba okusasula engassi ya 20,000/- oba byombi.

Egesa agamba nti, kino ky’ekivuddeko embeera ey’okuvunaanira abantu abasangiddwa n’emmundu mu kkooti y’amagye awali ebibonerezo ebikakali kuba abazigu abakwatibwa nga bakozesa emmundu, ebibonerezo byabwe bwe biggwaako nga bakomawo nga batandikira we baakoma!

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura yagambye nti bagenda kussa amaanyi ku kulwanyisa emmundu ezitali mu mateeka kyokka n’aggumiza nti n’amateeka agafuga emmundu geetaaga okutunulwamu kiyambe okukangavvula obulungi, be babeera bakwatidde mu buzigu bw’emmundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta