TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagenda mu byalo okulya Ssekukkulu bibasobedde!

Abaagenda mu byalo okulya Ssekukkulu bibasobedde!

By Ali Wasswa

Added 3rd January 2018

ABAAGENDA mu byalo nga basagambiza okulya ennaku enkulu bibasobedde oluvannyuma lw’emiwendo gy’entambula okudda mu bibuga okwekanama.

Kuzo 703x422

Abantu nga bakonkomadde mu ppaaka ya bbaasi e Mbarara olwa bbaasi obutalabikako ate nga n’ebbeeyi yeekanamye.

Ebisale by’entambula byalinnye okuva mu bitundu by’omu bugwanjuba okuddayo e Kampala, Masaka ne mu bitundu by’e Kigezi okudda mu Mbarara.

Okuva e Kanungu Kihihi Kisoro okudda e Kampala 70,000/- ate okuva e Kihihi okutuuka e Mbarara 40,000/-, okuva e Kisoro okugenda e Mbarara nawo 40,000/-.

Okuva mu kibuga Kabale okugenda e Kampala 50,000/- ate okuva e Mbarara okudda e Kampala 35,000/- .

Abamu ku basaabaze abaasangiddwa mu Paaka y’e Mbarara baawaliriziddwa okutunda ku byabwe okuli n’emmere gye baabadde nabo bafune ensimbi ezibatambuza.

Entambula okulinnya kivudde ku kuba nti okuva e Kampala bbaasi bavuga nkalu ng’ate balina okufuna ez’amafuta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wash 220x290

Abawala b’e Nansana 2 bafi iridde...

JUSTINE Namigadde 32 yalekawo abaana be n’agenda mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu gya waka ng’asuubira...

Abawala b’e Nansana 2 bafi iridde...

JUSTINE Namigadde 32 yalekawo abaana be n’agenda mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu gya waka ng’asuubira...

Meet 220x290

Bukedde eyanise enguzi mu kufuna...

BW’OSANGA makanika eyeefudde akanikira emmotoka ebweru wa ofiisi ezikola ku bya paasipooti, tosooka kumubamirako...

129633552surfinginternetyoungblackcouplerelaxingwithlaptopandcoffeeenjoyingweekendathome 220x290

Engeri gy'osiima laavu munno gy'akuwa...

OKUSIIMA kikolwa kya bugunjufu. Ate mu nsonga z’omukwano kiraga nti oli musanyufu olw’ebyo munno by’akukoledde....

Remanedokita 220x290

Rema nze Dokita Love

‘‘KAANA ggwe nkwagala nnyo, ndi faani wo mu myuziki era nafuna omuntu gwe nali nnoonya. Kati mmwe abali eyo nga...