TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni atabukidde Poliii ku ttemu lye Bukomansimbi

Museveni atabukidde Poliii ku ttemu lye Bukomansimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th January 2018

Museveni atabukidde Poliii ku ttemu lye Bukomansimbi

Jub1 703x422

Museveni ng’ayogera eri abatuuze b’e Bukomansimbi eggulo.

PULEZIDENTI Museveni asitukiddemu ku ttemu ly’ebijambiya e Bukomansimbi n’ateeka abapoliisi ku nninga olw’okulemererwa okukuuma abantu n’ebyabwe sso ng’ebyetaagisa okutuukiriza emirimu abibawa. Bwe yagenze e Bukomansimbi ab’ebijambiya gye baazinze ebyalo ne batemaatema abantu ne babatta n’abalala ne basigaza ebisago, yalambudde nju ku nju mu maka agaafiiriddwa abantu baawe mu bulumbaganyi buno.

Bwe yatuuse ew’omuserikale wa Poliisi eyattiddwa SSP Denis Ssebugwawo Lumala n’ayita aduumira poliisi e Masaka, Yasine Zaake. Yamukunyizza mu maaso g’abantu n’amubuuza oba emirimu gimulemye amugobe. Zaake yeerwanyeko n’annyonnyola pulezidenti nti abantu bafubye okubakuuma nga bwe bateeka mu nkola enteekateeka ya ‘Mayumbakkumi’ n’okuwa abantu obukodyo bwe bayinza okukozesa okwerwanako singa babeera balumbiddwa.

Museveni yalabudde abantu okukomya obulagajjavu kubanga Nnamwandu Hadijah Ssebugwawo yakuba enduulu n’alaajanira abantu bajje babataase okutwala Ssebugwawo mu ddwaaliro nga bamaze okumukuba kyokka baasigala bacakala, baagenda okumutuukako ng’afudde.

 OBUKODYO BWE YAKOZESA E NTEBE ABUTUTTE E BUKOMANSIMBI

Embeera eteri yaabulijjo, mu September omwaka oguwedde, Museveni yagwa bugwi e Katabi ku kyalo okwali ettemu ng’abantu abataategeerekeka batta abakazi. Yaggyayo akatabo n’abuuza abantu nga bw’awandiika era okuva olwo ettemu lyasirika. Eggulo Museveni yasitukiddemu ku ttemu ly’e Bukomansimbi n’atuuka mu maka g’abo abaafiirddwa abaabwe.

Yasookedde mu famire ya Winfred Kateregga e Kisaaka mu ggombolola y’e Kibinge nga wano we baasookedde ne baasaayasa ennyumba kyokka tebaamutuusizzaako bulabe n’abantu be kubanga baafunye omuzirakisa abataasa.

Kateregga yategeezezza pulezidenti nti guno gubadde mulindi gwakuna nga bamulumba. Luno lwe bazze yabadde munda ng’abalaba ku kkamera ze yateeka ku nnyumba kyokka baagenze okutwala kkamera mu bakugu okuzeekebejja nga tezaaterese bifaananyi. Museveni yabawadde 2,000,000/- okubadduukirira n’asuubiza okubayamba.

Yazzizzaako maka ga Gonzaga Kayemba e Kyabagoma mu Katoogo gwe basse nabo yabakubagizza ne bamutegeeza nti Kayemba yali ava mu kabuga k’e Kisaaka okwaniriza omwaka we yagwira mu batemu abaamutta era wano we battidde John Bosco Seremba, abadde asoma S3 mu Kibinge High School. Olwavudde wano yagenze butereevu mu maka g’omugenzi SSP Denis Ssebugwawo Lumala owapoliisi eyawummula eyattiddwa.

Wano minisita w’abavubuka n’abaana, Nakiwala Kiyingi ye yamwanirizza. Yayingidde mu nnyumba n’ayogera ne nnamwandu Hadijah Ssebugwawo eyattottodde ebyaliwo. Abatemu baamuwa omukisa asooke asome essaala n’abategeeza nti bwe babeera baagala ssente tazirina ne bamwanukula nti bo baagala bulamu. Olwamala okusoma essaala n’avumbagirako omu amutuge kwe kulaajana nti ‘afande banzita’ banne ne bayingira ne bakuba Ssebugwawo ne bamutta.

Omwana Nancy Nabifo, muzzukulu wa Ssebugwawo eyaleekaana ennyo naye baamukuba n’okumutema era yatwaliddwa e Mulago okumujjanjaba. Museveni yamuwadde obukadde 10 n’asuubiza okwongera okudduukirira famire n’okubayambako ku mirimu gye bakola.

Olwafulumye ennyumba ng’awerekerwa minisita w’ebyobulimi Vincent Ssempijja wamu n’omuduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura. Olwatuuse mu luggya n’ayogera eri abantu abaabdde bakuhhaanye n’abagumya nti abasse abantubano agenda kubakwata bavunaanibwe. Yalabudde abantu okukomya obulagajjavu kubanga omukyala yalaajanira abantu okumuyamba ne balema nga bagenda mu maaso n’okucakala.

Wano yayise Yasine Zaake akulira poliisi e Masaka n’amukunya nti oba emirimu gimulemye amugobe. Zaake yamutegeezezza nti abantu baalagajjalamu okukozesa obukodyo bwe yabawa ng’okufuuwa ffirimbi n’ebirala.

Wabula Violet Nabankema mwannyina w’omugenzi yayise pulezidenti ng’asimbula n’amutegeeza nti mwannyina yali amusuubizza okumuzimbira ennyumba naye bamusse tamuzimbidde. Museveni yamusuubizza nti agenda kumuzimbira ennyumba eno. Bwe yavudde ewa Ssebugwawo n’agenda ewa Jane Nantale e Kisojo n’abakubagiza.

Olwavudde wano, yagenze mu kisaawe e Kisojo n’ayogera eri abantu. Yazzeemu okukiggumiza nti gavumenti ekyanyweredde ku ky’okuteeka kkamera ku nguudo ne mu bibuga.

Yagambye nti abatemu bano balina ekibalo kifu kubanga okusinziira ku bye bamunnyonnyodde, bangu okukwata kubanga kuliko abagenda n’ebisago. Abantu bano balabika baagala kutabula mirembe kubanga basooka kusuula bipapula naye ye ne gavumenti balwanye entalo nnyingi ne luno bagenda kuluwangula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu