TOP

Tebyasa tebakyamuziise Kaliisizo

By Musasi wa Bukedde

Added 4th January 2018

Tebyasa tebakyamuziise Kaliisizo

Lab1 703x422

Omugenzi Meeya Tebyasa Matovu.

ABAANA ba Tebyasa abali e Kampala basazizzaamu enteekateeka y’okutwala omulambo mu lukiiko lwa Munisipaali e Masaka okusiima emirimu gye yakola we yabeerera Meeya wa Masaka.

Abaakumye olumbe e Masaka babawadde amagezi bakozese ssente ze baabadde bategese okukozesa mu kukungubaga n’okutambuza omulambo n’abava e Kampala bafune entambula ebatuusa e Lungujja beetabe mu kuziika. Kyasoose kulowoozebwa nti, banaamutwala ku biggya gye baaziika bakadde be e Matale Kaliisizo wabula byasaziddwaamu.

Enteekateeka eno baagyanjulidde mu bbaluwa eyateekeddwaako omukono gwa Daudi Lubega Mutunzi Mwaka Owessiga Tebyasa mw’ava mu kika ky’emmamba.

Olaleero (Lwakuna) waliwo Emmisa mu maka g’omugenzi e Lungujja mu Zooni ya Kikandwa, okuziika kwa Lwakutaano ku ssaawa 7:00 mu ttuntu. John Tebyasa Matovu owa DP yali Meeya wa Masaka (2001-2009) yafudde ku Ssande, wabula wabaddewo okusika omuguwa wakati w’abaana b’omukyala omukulu ne Namwandu Adrona Nyindombi ali e Masaka.

Bano baakumye olumbe mu maka g’omugenzi e Masaka agali ku Aggrip House mu kibuga Masaka nga bwe balindirira okuziika. Denis Lukanga Majwala eyakuliddemu enteekateeka z’okukungubaga e Masaka eggulo yategeezezza nti bo bategese kukungubagira Masaka era waabaddewo okusoma Mmisa ku Lwokubiri, ku Lwokusatu ne leero basuubira okusomera Mmisa.

We twatuukidde mu maka ga Tebyasa e Masaka, abaabaddewo baategeezezza nti, Namwandu Nyindombi n’abaana baabadde bazze e Kampala okuziika. Bategeezezza nti ab'ekika kye basalawo kye bagenderako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...