TOP

Ebyalo 5 e Lwengo bikaaba bbula lya mazzi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th January 2018

ABATUUZE ku byalo bitaano mu disitulikiti y'e Lwengo bali mu kattu lwa nnayikonto ebadde abawaniridde okufa.

Mazzi 703x422

Abantu nga bakung'aanidde ku nnayikonto okufuna ku mazzi. Nnayikonto yafunye obuzibu nga kati okusunda ekidomola ky'amazzi ne kijjula kikutwalira eddakiika 30 n'essaawa nnamba

Bya FLORENCE TUMUPENDE

Ebyalo okuli; Kyassonko, Busubi, Kyetume, Kisweera ne Kaabagala ebisangibwa mu ggombolola y'e Kisekka e Lwengo kati amazzi bagayita tuzzi oluvannyuma lwa payipu ezisika amazzi okwonooneka okuva wansi mu nnayikonto okwonooneka nga kati okusunda ekidomola kimu ne kijjula kitwala wakati w'eddakiika 30 n'essaawa nnamba! 

Ekizibu kino kyegattiddwako n'enzizzi okubeera ewala ng'abantu okufuna ku mazzi bamala kutindigga ng'endo mpanvu so nga n'okufuna agatundibwa nago ga bulumi; ekidomola kigula wakati wa 700 - 1000/-.     

Godfrey Namutinda, omu ku bavunaanyizibwa ku by'amazzi mu Lwengo yategeezezza nti balina enteekateeka okuyunga amasannyalaze g'enjuba gayambeko nnayikonto mu kusunda amazzi ku sipiidi abantu bawone okukozesa amaanyi amangi nga basunda.

Abatuuze basabye Gavumenti okubadduukirira okutaasa embeera eno eyinza okuviirako abantu n'ebisolo byabwe okufa olw'ebbula ly'amazzi kuba amazzi bulamu!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja