TOP

Mumbere akonkomalidde ku kkooti e Jinja

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2018

OMUSINGA wa Rwenzururu, Charles Wesley Mumbere akonkomalidde ku kkooti e Jinja olwa abalamuzi obutalabikako.

Mumbere 703x422

Mumbere ne mukazi we, Agnes Ithungu nga bakonkomalidde wabwweru wa kkooti

Bya JACKIE NAMBOGGA

Mumbere yabadde agenze okweyanjula ku kkooti enkulu e Jinja nga bweyalagirwa buli kuntandiikwa yomwezi bweyali ayimbulwa oluvanyuma lwokumukwaata kumisango egyekuusa kubutabanguko obwaaliwo e Kasese mu November wa 2016.

Yabadde ne Kattikiro we, Johnson Thembo Kitsumbire wamu nabaana omukaaga nga bano bonna bayimbulwa kkooti nebatekako obukwakulizo obwokweyanjulanga mu  maaso gomuwandiisi wa kkooti enkulu Jesse Byaruhanga.

Zagenze okuwera ssawa 3 nga bonna batuuse wabula nga ofiisi ya Byaruhanga nzigale. Yabadde awerekeddwako mukyalawe, Agnes Ithungu era baawaliriziddwa okutuula ku foomu eyabadde okumpi ne ofiisi ya Byaruhanga olwo Mumbere nadda mukunyumyamu nebasajja be abazze okumulaga obwagazi.

Yabadde akumiibwa abajaasi bemundu nabapolisi abalwanyisa obuttujju abaamuwerekeddeko kukabangali ne mmamba ya polisi nga bonna babaggalidde emmundu. 

Ye Ssaabawolereza wa Rwenzururu Alfred Makasi era nga yomu kubapuliida babawawabirwa e 201 okuli ne Mumbere bonna e 200 yawaririziddwa okukubira Byaruhanga essimu okumutegeeza nga bwe baabadde batuuse edda.

Byaruhanga yamutegezezza nga bweyabadde kulimu emitongole wabula namugumya nga bweyabadde alagidde omulamuzi oweddaala elisooka Peter Mutala okwongezaayo okwenjula kwabwe mu kkooti okutuusa nga 6/2/2018.

Mutala naye olwabadde okutuuka neyetondera Mumbere olwokumutuuza wabula namutegeeza nga bweyabadde aliko emisango gyasala ku kkooti ye Kakira  esangibwa mu Kakira tawuni kanso mu disitulikiti ye Jinja.

Mutala yagaanyi okusaba kwa Makasi okubeera nga ayongezaayo okweyanjula kw’abawawabirwa emyezi ebiri mumaaso nti kubanga yabadde akolera kubilagiro bya mukamaawe okubeera nga abawaandiikira ennaku zebalina okudda mu kkooti.

Yayongeddeko nga kino bwekitarizibwa mumateeka agafuga ekitongole ekilamuzi bwatyo nabalagira baddemu okweyanjula nga 6/2/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.