TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Ssebalamu, owa Freedom City ajaguzza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

Omugagga Ssebalamu, owa Freedom City ajaguzza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

By Joseph Mutebi

Added 7th January 2018

OMUGAGGA w’omu Kampala John Ssebalamu, nnannyini Freedom City ayuuguumiza lutikko e Lubaga bw'azzeemu okukuba ekiragaano ne mukyala we Ruth Ssebalamu nga bajaguza okuweza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu.

Johnssebalamubyjmutebi30 703x422

OMUGAGGA w’omu Kampala John Ssebalamu, nnannyini Freedom City ayuuguumiza lutikko e Lubaga bw'azzeemu okukuba ekiragaano ne mukyala we Ruth Ssebalamu nga bajaguza okuweza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu.

Omukolo gwakulembeddwaamu omusumba w’e Masaka John Baptist Kaggwa eyatenderezza Ssebalamu okuba ekyokulabirako eri Bannamasaka abalala n’abasuubuzi abalina ssente kuba ye akyatambulira ku Katonda.

 

“Ennaku zino obufumbo kye kimu ku bintu ebizibu ennyo abaagalana okubeera obumu nga bali mu mukwano okumala emyaka 25 nga balabika nga Bassebalamu. Nsaba kino mu kisiige ne mu baana bammwe be muzadde,” Bp Kaggwa bwe yabakuutidde.

“Naye bw’otunuulira Bassebalamu, omusajja eyali avuga akagaali k’amatooke ne bakuhhaanya ssente mpola ne mukyala we okuva e Masaka nga kati boogerwako mu ggwanga ne batuzimbira n’ekizimba nga Freedom City n’ebirala mu Kampala, kibeera kikulu nnyo.

alt=''

Yabakwasizza n’ebbaluwa okuva ewa Paapa Francis gye yabawandiikidde ng’abakulisa okutuuka ku myaka 25 mu bufumbo obutukuvu. Era nabo ne bamukwasa ekirabo ky’ekifaananyi kya klezia ya St. Peter’s e Kamuwunga mu Lwera gye bazimbidde abatuuze.

alt=''

Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda owookusatu Appolo Makubuya eyeetisse obubaka bwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yatenderezza Bassebalamu okubeera n’omukwano eri Obwakabaka bwa Buganda n’okuwagira enteekateeka za Buganda zonna omuli n’ettoffaali.

Ssebalamu yagattibwa ne mukyala we Ruth Ssebalamu mu 1991 ku kigo ky’e Kimanya Masaka era embaga eno yamalawo obukadde 4.

Balina abaana mwenda, abawala bataano n’abalenzi bana. Abagenyi baabasemberezza ku Freedom City.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA