TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bazudde boofiisa abakolagana n'abeebijambiya okutta abantu

Bazudde boofiisa abakolagana n'abeebijambiya okutta abantu

By John Bosco Mulyowa

Added 9th January 2018

BOOFIISA ba poliisi babiri nga tebannakwatibwa, poliisi yasoose kukwata basajja abateeberezebwa nti be bali mu kibinja ekyatemye abantu ebijambiya e Bukomansimbi.

Wada 703x422

Galiwango (mu maaso) nga bamutwala ne banne.

Baasoose kukebera masimu g’abagambibwa okuba abatemu ne basanga nga babadde boogeraganya ne boofiisa ba poliisi bano.

Ng’oggyeeko abagambibwa okuba abatemu bye baayogedde ku nkolagana yaabwe ne boofiisa ba poliisi bano, bambega baazudde nti buli lwe babadde bakwata abasajja abo ku misango gy’obubbi nga boofiisa ba poliisi abo balwana okubataasa era nga bamaliriza bayimbuddwa ku kakalu ka poliisi nga tebatwaliddwa na mu kkooti.

Abaakwatiddwa be babadde batwala poliisi y’e Mateete mu disitulikiti y’e Ssembabule okuli abadde agikulira, Abdul Hamidu Kabojja n’abadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi eno.

Ekitongole kya poliisi ekirwanyisa obuzigu obw’amaanyi ekya Flying Squad kye kyabakutte ne bateekebwa ku mpingu.

Omuduumizi wa Flying Squad Herbert Muhangi ye yakutte abaserikale bano bombi era baggaliddwa mu kkomera e Nalufenya.

Nalufenya kye kimu ku bifo ebitiisa oluvannyuma lw’okusibirayo abagambibwa okuba abatujju n’abagambibwa okuba abatemu ab’omutawaana.

Ofiisa Kabojja omu ku baakwatiddwa yatandikira ku poliisi y’e Makindye gye yali akola nga OC, era gye yava okutwalibwa ku poliisi y’e Kabowa gye yaweereza okumala emyaka egisoba mu ebiri.

Okuva e Kabowa, waaliwo okusika omuguwa oluvannyuma lw’akulira abayamba ku poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu Kabowa okumwemulugunyaako era ensonga ne zituuka n’ewa Gen. Kayihura.

Bwe baamuggyaayo, yatwalibwa mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi mu Kampala South e Katwe. Wano yamalawo ebbanga ttono nnyo ne bamuweereza mu Ndeeba okukulira poliisi yaayo.

Mu Ndeeba teyawangaalayo ne bamutwala e Katwe ku kitebe wabula mu ofiisi teyawezaayo mwezi ne bamukuba akatebe mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi mu Kampala South.

Oluvannyuma yasindikibwa e Mutundwe okukulira poliisi yaayo gye yaggyibwa n'azzibwayo e Kabowa mu kaseera katono ne bamuzza e Katwe gye yava okugenda e Ssembabule.

Buli we baamugyanga ng’agamba nti, waliwo abamulwanyisa abamupangira era ne ku kino bwe yategeezezza abaamukutte.

BAABATWALIDDE MU NNYONYI OKUBAGGALIRA E NALUFENYA

Pulezidenti Museveni bwe yagenze e Bukomansimbi gye baatemye abantu ne babatta, yatabukidde aba poliisi, era Gen. Kale Kayihura teyakomye ku kukuba makanda mu kitundu ky’e Masaka wabula yawadde n’ebiragiro ebikambwe.

Okukwata boofiisa abagambibwa okukolagana n’abamenyi b’amateeka kw’ossa okukola enkyukakyuka mu baduumira poliisi mu ttundutundu ly’e Masaka bye bimu ku bikoleddwa.

Kigambibwa nti, boofiisa bano era babadde bayambibwako n’abamu ku bajaasi b’eggye ezzibizi mu kitundu ky’e Masaka era nga na bano bali mu kibinja ekisanjaga abantu nga bakozesa ebijambiya.

Nga baakabakwata, ennyonyi nnamunkanga eya poliisi eyavudde e Kampala yabakimye e Ssembabule n’ebatwala butereevu e Nalufenya gye bakuumirwa.

Bombi baabadde ku mpingu era nga baggyiddwaamu engatto bali mu bigere. Poliisi era yakutte n’abantu abalala okuli n’ababadde bakola nga ba Crime Preventer abalwanyisa obumenyi bw’amateeka mu kitundu nga kigambibwa nti be bamu ku bali mu kkobaane n’abazigu.

Abamu ku ba poliisi bazze bakyogera nti mu poliisi mulimu boofiisa abakolagana n’ababbi era nga bagattako nti n’abamu ku ba Crime Preventer babbi wabula bakozesa ekifo ekyo okulukira boofiisa ddiiru era ne bakola ng’olutindo wakati w’ababbi ne boofiisa.

Ba Crime Preventer naddala abasiisira ku poliisi nti abamu baba bateeze kufuna nteekateeka ya bikwekweto bya poliisi era ne balabula ababbi ne beetegula nga tebannakwatibwa.

Bino byonna okubawo kiddiridde abeebijambiya okulumba ebyalo okuli Kisojo, Kyamabale, Katoogo ne Kisaka mu ggombolola y’e Kibinge mu Bukomansimbi ne batematema abantu bana mu kiro ng’ensi yonna eyaniriza omwaka omugya n’abatuuze be baali batemaatema ne bafunzaako omu ne bamutta.

Mu bantu abattibwa kwaliko; Denis Ssebugwawo Lumala 76, (omuserikale wa poliisi eyawummula ng’ali ku ddaala lya SSP), Johnbosco Sseremba 16, omuyizi eyali asoma S3 mu Kibinge High School, Jane Nantale, Gonzaga Kayemba 23, n’omusajja gwe baali bateebereza nti yali mu kibinja ky’abatemu era ng’ono kyazuulwa nti yali avudde mu Nyendo e Masaka.

Abalala okuli Joseph Kaggwa, Deus Kityamuwesi ne Nancy Nabifo n’abalala baasigala n’ebisago eby’amaanyi era abamu okuli ne Nabifo eyayisibwa obubi ennyo bakyajjanjabibwa.

Okuva Kayihura lwe yasalawo okusimba amakanda e Bukomansimbi, abantu abasoba mu 10 be baakakwatibwa ku ttemu lino era bonna bakuumirwa ku poliisi y’e Masaka.

Ate abaserikale abawerako okuva ku poliisi y’e Nyendo, bateereddwa ku katebe olw’okukola emirimu gadibe ngalye.

KAYIHURA AKYUSIZZA ABASERIKALE MU MASAKA

Oluvannyuma lw’ebintu okukaluba, Gen. Kayihura yasazeewo okukola enkyukakyuka mu baduumizi ba poliisi mu Masaka.

Mu bantu abaakyusiddwa, kuliko abadde omuduumizi wa poliisi y’e Bukomansimbi Patrick Ameru abadde yakatwalibwayo n’amusikiza Karoli Isabirye.

Enkyukakyuka zino, kitundu ku kiragiro kya Pulezidenti Museveni kye yawa Kayihura mu March ne May w’omwaka oguwedde abatemu abeebijambiya lwe basooka okulumba ekitundu era n’abalala bangi baakyusiddwa.

GWE BAKUTTE AKKIRIZZA OKUTTA ABANTU

Poliisi be yakutte kuliko: Musa Galiwango 20 ng’ono yakkirizza nti y’akulembera ekimu ku bibinja ebitema abantu. Ono abeera Ntoma mu Bukomansimbi era baamukutte ne banne okuli Twahir Luwoomya 23 w’e Bukomansimbi, Deo Kiggundu w’e Nyendo Masaka ne Mubarak Kawunde 17, w’e Bukomansimbi.

Bano poliisi yabatutte mu kkooti Enkulu e Masaka ne babasindika ku limandi mu kkomera e Masaka.

Galiwango yakkirizza nti abadde ateega abantu n’abatema kubanga batta kitaawe nga muto gwe baalumiriza nti, baamukwatira mu bubbi ne baganda be ng’agamba nti abadde awoolera ggwanga.

Poliisi yatutte Galiwango mu maka g’omugenzi Ssebuggwawo abeebijambiya gwe baatemye ne batta gye buvuddeko. Kayihura yatuuzizza olukuhhaana lw’abamawulire e Kitojo gye yabadde akubye enkambi.

Yagambye nti kibayambye ng’ebitongole by’ebyokwerinda okukolera awamu ne bakwata abantu bano abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu.

Yagambye nti be baakutte abamu babadde baakwatibwako emabega mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka okuggyako Galiwango y’abadde takwatibwangako.

Emisango poliisi gye yabagguddeko kwabaddeko obutemu, okubba nga bakozesa eryaanyi n’okutuusa obulabe ku bantu.

Yagambye nti bakyasobola n’okubaggulako egy’obutujju singa obujulizi bulabika. Ebijambiya lwe byasattiza ab’e Masaka omwaka oguwedde waliwo abavubuka abaakwatibwa era ne baggyibwa e Masaka ne baleetebwa e Katwe mu Kampala; Gen. Kayihura yalaga ab’amawulire abamu ku basajja be yali agamba nti be batema abantu e Masaka kyokka omu n’amwegaana mu maaso ga bannamawulire n’ategeeza nti byonna bipangibwa poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...

7031679624059851696890248511524775691026432o 220x290

Museveni ayanukudde abamuyeeya...

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde abamugamba nti akaddiye n’agamba nti si kituufu kuba akyalina embavu.

Komawo1 220x290

Abalamuzi bagobye abaakwatiddwa...

OMULAMUZI bwe yalabye ku Johnson Lubega omu ku bavubuka abagambibwa okutta Nagirinya, yagambiddewo abaserikale...

Kyusa 220x290

Eyalaba abatemu abatta Nagirinnya...

Brenda Nakyejwe (ssi ge mannya ge amatuufu) yategeezezza Bukedde nti ali mu kutya oluvannyuma lw’okukitegeera nti...