TOP
  • Home
  • Buganda
  • Nkoyoyo abadde tasosola mu bantu - Kabaka

Nkoyoyo abadde tasosola mu bantu - Kabaka

By Henry Nsubuga

Added 9th January 2018

SSAABASAJJA Kabaka akungubagidde Dr. Nkoyoyo gw’ayogeddeko ng’abadde omusajja omukozi ng’ate agatta eddiini zonna awatali kusosola.

Wana 703x422

Kabaka Mutebi ng’ali ne Dr.Nkoyoyo. Baali ku kkanisa ya St. Andrews e Mityana.

Mu bubaka bwe obwetikkiddwa omumyuka wa Katikkiro owookusatu e Mmengo Apollo Makubuya, Kabaka yagambye:

Mukyala Ruth Nkoyoyo n’abenju ya Ssaabalabirizi e Mukono, amawulire g’okufa kw’eyali Ssaabalabirizi gatuuse era gatunakuwazza nnyo.

Omugenzi yagatta okusomesa eddiini n’enkulaakulana. Yazimba amaka g’Obwassaabalabirizi e Namirembe, etterekero ly’ebyafaayo e Namugongo, yakola ku lukiiko olw’okuddaabiriza Olubiri e Mmengo era amagezi ge yatuwa gakyatugasa. Mu Lubiri e Banda yassaayo ekigango.

Abadde n’enjogera egamba nti, ‘buli ky’okola kola mangu’ era wano abadde atusoomooza okukola buli kimu mu bwangu. Abadde agatta eddiini zonna.

Omwoyo gwe Katonda aguwe ekiwummulo eky’emirembe.” Ate Makubuya ku lulwe yagambye: Twebaza maama Ruth Nkoyoyo ne famire n’abantu abalala abatukwatiddeko okujjanjaba omugenzi.

Abadde musajja wa mugaso eri Buganda ne Uganda. Ku lwange nfiiriddwa mukwano gwange kuba tubadde n’enkolagana eteri yaabulijjo.

Omugenzi abadde ayagala nnyo Katonda we, Kabaka we n’ekika kye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.