TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Bukoto mid west balombojjedde omubaka waabwe ebizibu

Aba Bukoto mid west balombojjedde omubaka waabwe ebizibu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2018

Aba Bukoto mid west balombojjedde omubaka waabwe ebizibu

Mu1 703x422

Abalonzi ba Bukoto mid west nga basitudde omubaka waabwe Muyomba Kasozi

Bya Florence Tumupende

ABATUUZE mu muluka gwe Kyassenya mu Disitulikiti y'e Lwengo balaajanidde omubaka waabwe mu palamenti abasabire Gavumenti ebatereereze eby'obulamu by'ekitundu kyabwe kwossa n'okubafunira n'amazzi amayonjo.

Abavubuka basabye amasannyalaze okutuusibwa mu kitundu kino gabayambeko mukwetandikirawo obukolero obutonotono kikendeeze ku bbula ly'emirimu.

" Ffe twetaaga otuletere minisita w'abavubuka mu ggwanga bwaba tasobola kujja mu kyalo nakyo tukimanye,kuba tulekeddwa nnyo ng'abavubuka b'ekitundu naddala mu kutumbula ebitono byaffe".Abavubuka bwebatyo bwebategeezezza.

Obubak buno babutisse omubaka waabwe owa Bukoto Midwest Joseph Muyomba Kasozi ku mukolo gw'abategekedde okubeebaza okumulonda.

 

Mukwanukula abatuuze Kasozi abagumizza nga bwagenda okubasakira n'okubatuusiza abakulu b'ekikwatako ng'agamba nti kye kyamulondesa.

Kasozi yeeyamye okusooka n'ekizibu ky'amasannyalaze abatuuze bafune ku ssanyu nga bwakoze mu bitundu ebirala.

Wabula alabudde abantu okuggya eby'obufuzi munkulaakulana nga benyigira mu mpeereza y'ekitongole kya Operation Wealth Creation ( OWC) kuba tesosola ng'eno yeemu ku nkola gyebayinza okuyitamu okweggya mu bwavu.

Mungeri y'emu asiimye bannalwengo okumubugiriza n'okusaamu obwesige n'abasaba nti emyaka 10 gye bamaze nga bakaaba ke kaseera abasangule amaziga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...