TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ambasada w'America atenderezza Phionah Mutesi omuzannyi wa Chess

Ambasada w'America atenderezza Phionah Mutesi omuzannyi wa Chess

By Teddy Nakanjakko

Added 9th January 2018

Ambasada w'America atenderezza Phionah Mutesi omuzannyi wa Chess

Kab1 703x422

AMBASADA wa Amerika, Deborah Malac atendereza Munnayuganda omuzannyi wa Chess Phiona Mutesi n’agamba nti kya ttendo okulaba omuwala omuto ng’atuuse ku buwanguzi bwe yabadde omuyozaayoza okutuuka ku buwanguzi bw’empaka za Chess ku wiikendi ezaabadde ku University of Dallas.

Mu bubaka bwe bwe yatadde ku mukutu gwa Twitter, Ambasada Malac yagambye nti, “Nkulisa Phionah Mutesi emunyeenye y’omu firimu ya Queen Of Katwe olw’okukutuusa yunivasite ye eya Northwest University ku buwanguzi mu mpaka za Chess eza Pan American Intercollegiate Chess Championships. Kiwa essanyu okulaba ng’abawala Bannayuganda batuuka ku buwanguzi.”

Mutesi Nakinku mu muzannyo gwa Chess yayambye ttiimu ye okuwangula ekikopo okuva ku ba kyampiyoni abamaze emyaka ena egy’omuddiringanwa nga bakiwangula nga bano yabawangulidde ku bubonero 4-0.  

Mutesi ne munne Ben Makumbya abali mu mwaka ogusooka ku sikaala eyabaweebwa yunivasite eno, yazannyidde ku mmeza nnamba 2yawangudde enzannya ssatu n’aggwa maliriri oluzannya olwasembyeyo ate munne Makumbya n’awangula ssanti ku mmeeza nnamba emu ne bakuhhaanya obubonero obwabawanguza.

Yunivasite munaana okuva mu Canada okutuuka mu South Amerika ze zeetabye mu mpaka zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina