TOP

Okwetandikirawo omulimu kye kinaakubbula mu 2018

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2018

OKUVA mu buto nga seegombakukozesebwa era nafuba okulaba nga ne bye nsoma binnyamba okwetandikirawo omulimu. Bwatyo Isaac Nkonge 31, ow’e Kirinnya mu Divizoni y’e Bweyogerere, Munisipaali y’e Kira bw’agamba.

Baje1 703x422

Ekimu ku bipande ky’okubisenge Nkonge by’awunda ng’akozesa ebyayi.

Omulimu gwe omukulu gwa kuwunda n’okukola ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwabulijjo ng’akozesa ebyayi n’ebitoogo.

Nkonge y’akulira kkampuni eya Ttalanta Designs e Kirinnya-Bweyogerere ng’ekola n’okuwunda entebe, emmeeza, obusawo bw’abakyala n’ebyokwewunda, engatto, ffaani, ppaasi, ebipandde by’oku bisenge n’ebirala.

Nkonge agamba nti, okuva mu buto ng’ayagala okusiiga ebifaananyi, era yasookera ku kubikuba ku ttaka ttaka. Bwe yagenda ku ssomero, yeeyongera okutwala ekitone kye mu maaso nga ng’ayambibwako abasomesa.

Bwe yali akyasoma ebibiina ebya wansi, ekitone kye teyakireka mabega era yayambangako abasomesa okubakubira ku ebipandde by’omu kibiina n’okubakubira ebipande.

Agamba olwamaliriza okusoma S6, yagenda ku Kyambogo Yunivasite n’ayongera okukuguka mu kusiiga ebifaananyi n’abifunamu ne diguli.

Olwamaliriza okusoma, mukwano gwe Kimani Muturi kwe kumuyita amwegatteko mu kkampuni ye esiiga ebifaananyi eya Texfad ne batandika okukola bombi.

NTANDIKA KKAMPUNI EYANGE

Nasalawo okweyawula ku Kimani mu October 2016, ne ntandika kkampuni eya Ttalanta Designs kuba amagezi agakola omulimu gwe baali bankozesa nali ngalina ne bye nnina okukozesa nga mmanyi we nnina okubiggya.

Nasooka ne nfunayo abavubuka babiri ne mbayigiriza ku bwereere era bano be nkola nabo omu nga nkola naye ate omulala anoonya katale era okuva lwe natandika siddanga mabega.

Mu kuwunda ebintu bino ngattako okusomesa ababa beetaaze okuyiga ng’omuyizi ayigira emyezi esatu n’asasula emitwalo 20.

Bwe baali bakyankozesa, omwezi nafunanga wakati w’emitwalo 20 ku 50 okusiinziira ku ngeri gye twatundanga, kuba saalina musaala gwankalakkalira, wabula nga nfuna okusinziira emmaali bw’eba etambudde.

Ssente zino nagenda nterekako okumala emyaka ena n’empeza obukadde bubiri era buno bwe natandika nabwo. Akakadde nakasasula ekifo okumala emyezi ena, ate akaasigalawo n’engulamu ebintu by’okukozesa ne ntandika.

Naye waliwo abavubuka abafuna ssente ezisinga wano kyokka nga tebaterekako kutandika mirimu gyabawe.

EMITENDERA GY’OYITAMU

Nga sinnaba kola kintu kye njagala, nsooka ne nfuna ebyayi nga biweweevu, ebikalambavu biyinza okukutuka.

Mbitegeka mu langi ez’enjawulo nga bwe mba njagadde okubikozesa okusobola okuggyayo kye njagala. Nfuna amasanda ag’okukwasa ebyayi ku kintu kye hhenda okuwunda nga nkozesa ‘wood Glue oba Tuff Bond’ nga ono gwe bakozesa mu kusiba engatto.

Ggaamu mmusiiga ku kintu kye hhenda okuwunda ne ku byayi nnindamu eddakiika eziri wakati wa 5-10 okusobola okukala. Nga bikaze, mbigattamu ggaamu gwe natadde ku kintu kye hhenda okuwunda.

Bwe mmaliriza okubiwunda nzirako omulimu gw’okubisiiga vaanisi okukirabisa nga kimasamasa n’okukiyamba obutagendako nfuufu nga nkozesa ekika kya ‘’Clear Vanish’’ ng’ono ayamba ekiwunde okusigala mu langi y’ebyayi.

Akakebe akagula 10,000/- kasobola okukola ku biwunde 5 n’okusingawo okusinziira ku sayizi yaabyo. Ebyayi byenkozesa mbifuna okuva mu nsuku eziriraanyewo, nga mbigula 5,000/- ku 10,000/- ekiganda ekinene.

Naye okukola tewetaaga byayi bingi, wabula ekikulu kwe kuba nga biri ku mutindo. Ekyayi ekikola kirina okuba nga bw’ogiweta kidda bulungi nga tekikutuse, ekitasobola kukola ekyo kiba tekikola.

 bimu ku bintu konge byakola ne birabika bulungi ngabiwunze mu byayi Ebimu ku bintu Nkonge by’akola ne birabika bulungi ng’abiwunze mu byayi.

 

AKATALE

Nkonge agamba nti; Ebintu by’akola abisuubuza mu bantu abali mu mulimu gw’okutunda by’emikono ng’atera kubitunda mu bitundu by’e Nansana, Kito ne mu Kampala kw’ossa n’abo ababigulira w’abikolera.

Olw’okugaziya akatale, yasalawo okuteeka ne ku mutimbagano gwa yinteneti okuli ‘Facebook’ ne ‘Whatsapp’ ng’abyegombye abimutwalira wonna w’ali.

Omuntu aleese ekintu kye akiwunde, amuggyako ssente okuva ku 20,000/- n’okudda waggulu okusinziira ku mbeera gye kirimu.

Omwezi nga byonna mmaze okubisasula nfissa wakati w’emitwalo 30 ku 40, naye jjukira kkampuni yange yaakamalawo omwaka gumu.

EBINNYAMBYE

Obwagazi bwe nnina eri omulimu gwe nkola bunnyambye okugenda mu maaso. Bazadde bange bannyambye okutuukiriza ekirooto kyange kuba baamanya kye njagala era ne banteekamu ssente ne nkikugukamu ekinnyambye okweyimirizaawo ne sibulwa kyakulya.

BY’AFUNYEEMU

Nfunyeemu ssente ezinnyamba okweyimirizaawo n’okusasula ekifo we nkolera emitwalo 25 buli mwezi kw’ossa n’okusasula abakozi nga bano mbasasula okusinziira ku mulimu omuntu gw’akoze. Kizzaamu amaanyi okulaba nga nnina abavubuka be nsobola okuwa emirimu ne babaako kye bayingiza.

Omulimu guno gunnyambye okufuna emikwano emipya, ate nagyo ne gingatta ku katale akalala kuba bino ebyaffe tubitundira ku mimwa, abimanya y’abuulira abalala obulungi ebibulimu ate ne bajja okugula.

OKUSOOMOOZEBWA

We nkolera wabuseere ate wafunda nneetaaga ekifo ekinene okusinziira ku bye ndowooza okukola ate nga nnina n’ekirooto okutandika ettendekero ly’ebyemikono.

Abantu balina endowooza nti, ebintu bye nkola bya bbeeyi olw’omutindo gwe babirabamu n’abamu ne batya okukyama okulamuza atenga sibya buseere nga bwe balowooza, ate abamu babibuusa amaaso nga balowooza bya bazungu ekinkosaamu mu katale.

EKIROWOOZO

Nkonge agamba nti, abavubuka basaanye okukola bave mu nkaayaana z’ebyobufuzi ezitabazimba.

Asabye abavubuka okwettanira emirimu gy’emikono baleme kulowooleza mu mirimu gya ofiisi emitono oba kabe kasinge egitaliiyo kino kijja kuyambako okumalawo ebbula ly’emirimu mu ggwanga. Ne bw’oba olina diguli ekugasa ng’olina ky’oyingiza sso si kutuula nayo.

Wabula ne gavumenti ssente z’eteeka mu bavubuka ssinga balondobayo bizinensi ze balaba nga zibaddewo ekiseera ne bateeka mu bazikola ssente ate ne basomesa abalala.

Naye abamu bafuna ssente nga tebakolanga ku bizinensi, ziba zirina kugwa ne batasobola kuzizzaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”