TOP

Omukazi ow'obuggya asozze bba ekiso n'amutta

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2018

OMUKAZI asse bba gw’alinamu abaana ababiri bw’amufumise ekiso mu kifuba ekimuttiddewo ng’amulanga kumulemerako ate nga ye yamukoowa.

Panda 703x422

Harriet Nambi 24, omusomesa yasse bba Musa Batare abadde ssentebe w’abavuzi ba bodaboda mu disitulikiti y’e Kamuli, oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya.

Abafumbo bano babadde bapangisa omuzigo ku nnyumba za Hamza Baligeya mu Kaniyanja zooni mu kabuga k’e Kaliro era nga we waabadde ettemu lino.

Isma Baligeya, mutabani wa nnannyini nnyumba era muliraanwa n’awaabadde ettemu yagambye nti abafumbo baafunye obutakkaanya era Nambi n’agezaako okugoba Batare omuviire kuba abadde yamukoowa. Kyokka omusajja bwe yeeremye okugenda ekyaddiridde kwabadde kulwanagana.

Kyategeezeddwa nti Batare abadde n’abakazi basatu, kyokka Nambi ng’amulumiriza nti tamufaako ng’obudde obusinga abumala wa bakazi balala.

Kigambibwa nti omukazi yavudde mu mbeera n’akwata ekiso kye yasozze bba mu lubuto ne mu kifuba ebyamuggye mu budde.

Aba bodaboda e Kaliro baavumiridde ettemu lino ne bategeeza nti mukama waabwe abadde abakulembera bulungi, ng’abasakira n’obuyambi.

Sipiika wa disitulikiti ye Kaliro, Sanon Bwire eyakiikiridde ssentebe wa disitulikiti Wycliff Ibanda mu kuziika ku kyalo Bukoova mu disitulikiti y’e Luuka yalaze okunyolwa olw’ettemu ku Batare.

Yayogedde ku mugenzi ng’afubye okukulaakulanya mukyala we eyamusse kuba yamusomesa n’amunoonyeza n’omulimu mu Gavumenti.

Yasabye Gavumenti okudduukirira famire y’omugenzi kuba alese abaana 15 abato ne bannamwandu basatu.

Disitulikiti Khadi wa Kaliro, Sheikh Ali Yahaya Nalemo eyakulembedde eby’okuziika yasabye abantu naddala abafumbo okufuganga obusungu nga bafunye obutakkaanya, baddukire eri abantu abayinza okubayamba okusinga okukola ettemu ekikontana n’eddiini.

Akulira poliisi e Kaliro,SP Joseph Kihamba yagambye Nambi yakwatiddwa era nga waakuggulwako omusango gw’obutemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Condomismaelssempumatestimonywebuse 220x290

Enkozesa ya kondomu eneekutangira...

Okwesunga akaboozi ekisusse kiremesezza bangi okukozesa kondomu

Kab2 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze engeri butto w'obusigo bw'amapaapaali gy'akola ku maaso n'embuto ez'esiba...

Kig1 220x290

Akatabo ka Ham kawangudde engule...

Akatabo ka Ham kawangudde engule ey'okubiri

Kabaleeweb 220x290

Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa...

Kabale Sharp eya Big League, ewangudde Water FC, n'esannyalaza emikisa gyayo okwesogga liigi ya babinywera

Hajjathanifakawooya 220x290

Kkooti y'e Sembabule terina kaabuyonjo...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Sembabule, Hanifa Kawooya, asabye gavumenti okuzimba ekizimbe kya kkooti y’e...