TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kirumira talabiseeko mu kkooti ku musango gw'okwezza essomero

Kirumira talabiseeko mu kkooti ku musango gw'okwezza essomero

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2018

OMULAMUZI wa kkooti Enkulu etaawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala, Alvidza Elizabeth alagidde omugagga Godfrey Kirumira okujja mu kkooti yeewozeeko ku musango ogumuvunaanibwa ne bbanka ya DFCU okwezza essomero mu lukujjukujju.

Laba 703x422

Omusango guno gubadde gulina okuwulirwa wabula puliida wa Kirumira, Isaac Walukagga yasoose butabaawo mu kkooti ng’asindise omusigire we. Omulamuzi yasazeewo ayimirize kkooti okutuusa nga Walukagga azze.

Nga wayise akaseera, Walukagga yatuuse mu kkooti olwo n’eddamu wabula abawawaabirwa bonna tebaabaddewo kwewozaako, ekiwalirizza omulamuzi okuwa olwaleero (Lwakusatu) abawawaabirwa bajje beewozeeko n’abajulizi baabwe.

Yategeezezza nti Kirumira mulwadde ali ku ndiri tasobola kujja mu kkooti kyokka omulamuzi Alvidza n’amulagira yeewalirize ajje n’abajulizi abalala omusango guggwe mu bwangu.

Kkooti egenze mu maaso era omukungu avunaanyizibwa ku kubalirira ettaka okuva mu ofiisi y’ebyettaka, Lucy Kabenge 59, nga ye mujulizi owoomunaana ku ludda oluwaabi awadde obujulizi bwe.

Kabenge ajulizza ebbaluwa eyawandiikibwa aba bbanka ng’esaba okuweebwa omuwendo ogubalirirwamu mu ttaka ku bulooka nnamba 382,214,724 ne 1199 ng’eraga nti tekwali nkulaakulana yonna.

Ono ayongeddeko nti ettaka lyabalirirwamu obukadde 300 mu kiseera ekyo kyokka oluvannyuma kyazuulwa nti kwaliko essomero bano lye bezza okuva ku Ssendagire.

Stephen Ssendagire, alumiriza Kirumira okwekobaana n’aba bbanka ya DFCU 2008 abaali bamuwadde looni ne bawa Kirumira essomero lye ne mukyala we Gladys Nanyondo erya Bright Future Vocational School e Bwebajja nga tebamukkirizza kwenunula.

Omusango guddamu olwaleero ng’abawawaabirwa beewozaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drstella1562588246355aspr1308w760h581e 220x290

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula...

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya...

Luck 220x290

Empuliziganya kikulu mu bufumbo...

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya...

Coulple 220x290

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula...

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula...

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfi ira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...