TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ofiisa eyakwatiddwa ku bijambiya yasooka kutigomya Kampala

Ofiisa eyakwatiddwa ku bijambiya yasooka kutigomya Kampala

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2018

OFIISA wa poliisi ASP Abdul Hamidu Kabojja eyakwatiddwa ne munne nga kigambibwa nti balina enkolagana n’abatema abantu ebijambiya mu bitundu by’e Masaka aludde nga bamwemulugunyaako.

Wata 703x422

Twahiru Muwonge ( ku kkono), Mubaraka Kawunde ne Deo Kiggundu nabo baakwatiddwa.

Ng’ali ku poliisi e Kabowa, omusibe yamulumiriza nti apangisa ababbi emmundu wabula yabisambajja n’ategeeza nti abamulwanyisa be baapanze nga bayita mu musibe oyo okumwonoonera erinnya.

Oluvannyuma lw’okumukwata n’atwalibwa e Nalufenya abamu ku batuuze e Kabowa ne Mutundwe gye yasooka okukolera baamulumirizza nti yabatigomya mu kiseera we yabeerera OC atwala ekitundu.

Baamukwatidde Mateete, Ssembabule gye yali yaweerezebwa omwaka oguwedde nga y’akulira poliisi eyo era baamukutte ne munne abadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi eyo.

Okumukwata kyaddiridde okuzuula ng’abadde awuliziganya n’abavubuka abagambibwa okuba mu kibinja ekitema abantu mu bitundu bya Buddu era amasimu ge babadde beekubira, poliisi kwe yasinzidde okuweerezaayo Flying Squad n’emuteeka ku mpingu ne munne era ne babateeka ku mpingu ne babalinnyisa nnamunkanga ya poliisi nga tebali mu ngatto ne basibira e Nalufenya.

YASOOKA KUTIGOMYA B’E KABOWA

Omu ku batuuze b’e Kabowa era nga y’omu ku bali mu by’okwerinda ku LC yagambye nti: Afande Kabojja ye yali atwala poliisi yaffe wakati wa 2015 ne 2016 wabula obumenyi bw’amateeka nga bweyongera buli olukya.

Okumenya amayumba nga bakozesa ebissi omuli ebijambiya nakWo kweyongera kyokka ekyayamba temwafiiramu bantu era ne tutandika okwemulugunya.

Olumu waliwo ababbi we baali bagenda okubba nga waliwo paatulo ezirawuna ne basindika obubaka wabula ne buwaba ne busibira ku ssimu y’omuntu omulala ku poliisi eyo.

Obubaka bwali bugamba nti: Afande eno waliyo ba ppopi (aba poliisi) abalawuna, balagire baveeyo. Okunoonyereza kwatandika era ab’ebyokwerinda ne bazuula nti obubaka obwo Afande Kabojja yali alina ky’abumanyiiko.

Kigambibwa nti oluvannyuma yeegayirira nnannyini ssimu obubaka kwe bwali bugenze aleme kumuwaako bujulizi kubanga kyali kisobola okumufiiriza omulimu.

Kuno kwegattibwako omusajja ateeberezebwa okuba omubbi eyalumiriza Kabojja nti apangisa ababbi emmundu; kyokka Kabojja yabyegaana n’agamba nti ebyo bipangibwa abantu abamulwanyisa mu poliisi.

N’abantu abalala e Kabowa ne Mutundwe, bazze bamulumiriza enfunda nnyingi nti abantu be bajjanga bamuloopera nti babbi era olumu ne babakwata ne batwala ku poliisi ng’abayimbula tebatwaliddwa wadde mu kkooti.

Kino, kye kyavaako okusika omuguwa wakati wa Kabojja n’omukulembeze wa ba Crime Preventer e Kabowa.

Akulira ba Crime Preventer yatuuka n’okuloopa Kabojja ewa Gen. Kale Kayihura era ne balagira ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Professional Standards Unit (PSU) okumunoonyerezaako era ekiseera ekyo Kabojja “baamuteeka ku katebe” ku poliisi e Katwe nga talina mirimu gy’akola.

OKUNOONYEREZA KUNYINYITTIDDE

Wadde Kabojja ne munne baabasibidde Nalufenya, wabula okunoonyereza bakukwanaganyiza mu Kampala.

Fayiro Kayihura yalagidde ekwasibwe Mark Odong eyali akulira ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango egya naggommola ekya Special Investigations Unit y’aba aginoonyerezaako.

Abaserikale bano bombi, baakwatibwa Flying Squad nga bakolera ku biragiro bya Kayihura oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu bantu nti baliko engeri gye bakolaganamu n’abamenyi b’amateeka.

Herbert Muhangi aduumira Flying Squad yagambye nti bakyabakuumira Nalufenya nga bwe babanoonyerezaako.

Omwogezi wa poliisi ya Masaka n’emiriraano, Lameck Kigozi yategeezezza nti okukwatibwa kwabwe kwakoleddwa ttiimu eyavudde e Kampala era n’okunoonyereza be bakukolako.

Abamu ku bavubuka abaakwatiddwa mu by’okutema ebijambiya kyazuuliddwa ng’abamu bazze bakwatibwa kyokka ne bayimbulwa era okuyimbulwa okwo nga kigambibwa nti Kabojja ne munne be babadde bayambako.

Pulezidenti Museveni mu kukungubagira AIGP Andrew Felix Kaweesi yalagira Kayihura agogole poliisi n’akikkaatiriza nti waliwo abamenyi b’amateeka abaasensera poliisi ne bakolagana n’abazigu okutigomya abantu.

BAZZE BEENYIGIRA MU BUTEMU OBULALA

Kigozi yagambye nti, abantu abaakwatiddwa, baasoose kubaggulako emisango okuli egy’obutemu n’okubbisa eryanyi n’agattako nti, waliwo fayiro endala emabegako Musa Galiwango eyeenyigidde mu ttemu ly’e Bukomansimbi ne banne gye beenyigiramu.

Galiwango yakkirizza nti y’omu ku baabadde mu kibinja ekyasse abantu bana e Bukomansimbi nti era akikola yeesasuza olwa kitaawe gwe batta.

Abaakwatiddwa okuli; Musa Galiwango, Twahir Luwoomya, Deo Kiggundu ne Mubarak Kawunde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...