TOP

Lukwago alabudde ku bbago lya Kampala

By Hannington Nkalubo

Added 11th January 2018

LOODI Meeya, Erias Lukwago atuuzizza olukiiko olusoose mu mwaka guno n’ategeeza bakansala n’abakozi ba KCCA nga bw’atagenda kukkirizza kufootoolwa tteeka eriri mu bubage erigenderera okumuggyako obuyinza.

Ssebaana8650488 703x422

Loodi Meeya Erias Lukwago

Yabategeezezza nti bakansala beetegeke okusalawo oludda kwe bagenda okuyimirira.

“Mwenna abamanyi nti mwalondebwa bantu okubakolera ku byetaago byabwe mu kibuga mwetegeke okudda ku ludda lwange. Abalala abayuugayuuga nnammwe mwetegekere okusanga akaseera akazibu, ” Lukwago bwe yabalabudde eggulo, mu lukiiko olwatudde ku City Hall.

Lwetabiddwaamu omumyuka wa dayirekita Samuel Sserunkuuma n’abakulira ebitongole eby’enjawulo mu KCCA.

“Omwaka guno enkiiko zijja kuba ntono kuba ebigenda okuddako tewali abimanyi. Nze siri mwetegefu kukolera mu kitongole mwe sirina buyinza. Palamenti egenda kutandikira ku bbago lya KCCA era buli omu wano amanyi kye twasalawo nti twasaba dda baliggyeyo era kye tulina okusibirako,” Lukwago bwe yagambye.

EBYATEESEDDWAAKO

Lukwago yasabye lipooti ekwata ku batemi b’ennyama abakozesa eddagala ely’obulabe omuli n’erikola ku bafu mu nnyama.

Okulira ebyobulamu Dr. Daniel Okello yategeezezza nti kitufu abamu ku batemi b’ennyama bakozesa ebiragala eritakkirizibwa.

“Gavumenti etaddewo akakiiko akatuulako aba KCCA, abakola ku mutindo gw’ebintu (UNBS), abakola ku ddagala, minisitule y’obulimi, n’abakulira ebyeddagala (NDA),” Okello bwe yagambye.

Olukiiko lwebazizza kkampuni ya New Vision Group efulumya ne Bukedde okulwanirira abantu era bakansala ne banenya abakozi ba KCCA obutayanguwa kuzuula bulabe buli mu kutunda nnyama erimu eddaggala.

Bakansala Alice Amony, Moses Mugisha Okwera, Kennedy Okello, Faridah Nakabugo ne Murushid Buwembo, baategeezezza ng’abakozi ba KCCA bwe battakoz kimala ne basalawo bongere amaanyi mu kukebera ennyama n’okukwata abeenyigira mu bikolwa by’ettemu nga batunda ennyama eriko obutwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Luma 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Tukulaze engeri gye baakutte ababadde bakuuma Gen. Kayihura ne bye baboogezza.Mulimu ebipya ebikwata ku muserikale...

Unra1 220x290

Kagina atongozza okuzimba oluguudo...

Akulira ekitongole kya UNRA ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga, Allen Kagina atongozza okukola oluguudo Masaka...

Zimu6 220x290

Yeefudde alinnyiddwaako emizimu...

MULEKWA agambibwa okulinnyibwako omuzimu gwa nnyina asattizza Abapoliisi abagenze okukakkanya abooluganda abeesuddemu...

Whatsappimage20180621at30647pm 220x290

Musoosowaze nnyo eby'obulimi n'obulunzi...

MINISITA w'ebyamawulire n'abagenyi e Mmengo, Noah Kiyimba asinzidde Lukaya mu Kalungu n'akunga Obuganda okusosowaza...

Sentebemutabaazingataakakanebasentebebebyaloabalemereddwaokukolanebaddamukugwiranababongezeomusaala 220x290

Bassentebe ba LC 1 e Lwengo balaajanidde...

BASSENTEBE b'ebyalo 454 ebikola disitulikiti y'e Lwengo balaajanidde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abongeze...