TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyadduse e Kiboga olw'obubbi bamukutte yeemagazza mu byambalo by'amagye

Eyadduse e Kiboga olw'obubbi bamukutte yeemagazza mu byambalo by'amagye

By Moses Lemisa

Added 11th January 2018

POLIISI ekutte omuvubuka n'akkiriza okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka e Kiboga ng’era munne bwe baali babba, ye baamukuba emiggo ne bamutta.

Confirmed 703x422

John Nabongho eyakutte Mugabo (ali wakati) eyadduse e Kiboga.

Frouk Mugabo 30, yakwatiddwa poliisi y’oku luguudo lwa Northern Bypass ku Kaleerwe ku Lwokubiri oluvannyuma lw’abasuubuzi okumwekengera olw'okuba yabadde mu byambalo by'amagye kyokka ng'enneeyisa ye si ya kijaasi.

Magabo ng’ali ku poliisi baamulagidde okuggyamu essaati ne bamusanga n'enkovu mu mugongo, ebiwundu mu mutwe, emikono n'ebifo ebirala.

Yasoose kutegeeza nti, yalwana ne mukwano gwe abaserikale ne bamugamba bagenda kumutwala mu kitongole kya Fly Squad olwo n'ayogera amazima.

Yagambye nti nzaalwa y’e Kiboga ku kyalo Kyayimba mu muluka gw'e Kapeke.

Yagambye nti, mu October w’omwaka oguwedde baagenda ne munne Erisa okubba abatuuze ne babataayiza ne babakuba ne bayisibwa bubi.

Agamba nti, baatwalibwa mu ddwaaliro e Kiboga ng’eno Erisa gye yafiira kyokka ye n'asimattuka.

Oluvannyuma yatwalibwa mu kkooti n'asindikibwa mu kkomera e Kiboga wabula oluvannyuma bwe baamukomyawo mu kkooti maama we Joyce Nakalema n'amweyimirira ne bamuta.

“Ku kyalo baali bammanyi ng’omubbi era engeri gye baali basse munnange natya okuddayo kwe kujja e Kampala. Bwe nabuliddwa we nsula mbadde hhumye nzireyo kuba obubbi nabuvaamu. Eno empale y’amagye mbadde simanyi nti erina obuzibu okugyambala", Magabo bwe yategeezezza.

Mu nsawo gye yabadde nayo mwasangiddwaamu engoye, amasuuka, obufaananyi bw’abawala obw'enjawulo n’ebiwandiiko ebimwogerako okuli pamiti ng'eraga yazaalibwa mu 1986 ate densite ng'eraga 1988.

John Nabongho akulira poliisi y’oku luguudo lwa Northern Bypass yategeezezza nti okusinziira ku ndabika ya Mugabo n'enkovu z'alina kirabika alina emisango egiwerako ku poliisi ez'enjawulo.

Yagguddwaako fayiro nnamba SD/REF:09/09/08/01/2018. Ssentebe wa Lufula Zooni e Kiboga, Joseph Muliika ng'asinziira ku ssimu yategeezezza poliisi nti, Mugabo baasooka ne bamukwata ne mukwano gwe omwaka oguwedde nga bava okubba munne n'afa olw'emiggo gye baamukuba.

Yagambye nti, Mugabo wadde yeeyimirirwa ku musago guno, ate ku Lusooka omwaka yasangibwa mu Zooni ya Lufula zooni ng’amenya ennyumba n'adduka. Yasabye poliisi obutamuta poliisi y'e Kiboga emunone.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina