Robert Beine, akulira ebyokulonda mu disitulikiti y’e Ntungano ye yalangiridde Kahima ku buwanguzi ku ssaawa 6:25 ez’omu ttumbi mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano.
Ku balonzi 50,073 abaalonze, Kahima yafunyeeko 31,102 n’addirirwa Eng. Jackson Mubangizi Kabeikire eyafunye 16,345, Dr. Peninah Beinomugisha yafunye 2,103 ate Vastine Orishaba Byarugaba n’abuukayo n’obululu 523.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama yakubirizza Kahima okugatta abantu bonna omuli ne be yawangudde, basobole okukulaakulanya ekitundu.
Oluvannyuma lw’okulangirirwa ku buwanguzi, Kahima yategeezezza nga bw’agenda mu Palamenti ng’agenze kutwala ndowooza za bantu b’e Ruhaama bonna kuba kati ly’eddoboozi lyabwe.
Okulonda kuno kwadiddwaamu oluvannyuma lwe yali omubaka we Ruhaama mu disitulikiti ye Ntungamo, William Beijukye Zinkuratire okufa mu November wa 2017.