TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Trump asazizzaamu olugendo lw'e Bungereza n'alumiriza Obama okutunda ekitebe kyabwe obusentesente obutagula na binyeebwa

Trump asazizzaamu olugendo lw'e Bungereza n'alumiriza Obama okutunda ekitebe kyabwe obusentesente obutagula na binyeebwa

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2018

PULEZIDENTI Donald Trump asazizzaamu olugendo lw’abadde ategeka okugendako e Bungereza okuggulawo ekizimbe ky’ekitebe ky’Amerika ekipya.

Ctfactchecktrumpnewsconference20170111 703x422

Donald Trump, Pulezidenti wa Amerika

Washington, Lwakuna

Omukolo gubadde gutegekeddwa kukolebwa mwezi ogujja wabula Trump obubaka yabutadde ku mukutu gwe ogwa Twitter n’ategeeza nti yabadde tayinza kuwagira bukenuzi obwakolebwa munne gwe yaddira mu bigere Barack Obama.

Yagambye nti ekitebe kya Amerika ekikadde ekyali ku Grosvenor Square e London baakitunda busente obugula ebinyeebwa.

Ekizimbe ekipya kye bagenda okuggulawo kiwemense akawumbi ka ddoola kalamba. Okuva lwe yagaanyi kiteeberezebwa nti agenda kusindika minisita w’ensonga ezeebweru Rex Tillerson.

Abakugu mu byobufuzi bategeezezza nti Trump ayinza okubeera ng’agaanyi okugendayo okuggulawo ekizimbe kubanga buno bugenyi bwa kukola mirimu so nga gye buvuddeko yayogera ne Katikkiro wa Bungereza Theresa May ku ssimu n’amuyita ku bugenyi obutongole mu kiseera ekikyali mu maaso.

Ekizimbe ekipya kye bagenda okuggulawo kiri mu Vauxhall, South London Trump ky’agamba nti kiri mu kifo kibi nnyo ekitatuukana na kitiibwa kya Amerika bw’ageraageranya n’ekikadde we kyali.

Ekizimbe kino kyatongozebwa Obama okuzimbibwa nga kati Trump y’abadde alina okukiggulawo n’agamba nti tayinza kusala kaguwa naye abalibwe nti yatumbula obukenuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dygkzrkx0aed3xr 220x290

Ababaka beekozeemu ekibina ekirwanyisa...

OMUSUJJA gw’ensiri gutta Bannayuganda 16 buli lunaku era ababaka ba Palamenti beekozeemu ekibiina ekigenda okugulwanyisa...

Wattu 220x290

Abadde ategeka embaga afudde banne...

STEVEN KIZZA yasoose kwekubya bifaananyi nga yaakatuuka ku biyiriro. Oluvannyuma yataddeyo ebigere mu mazzi, nga...

Rib2 220x290

Enteekateeka z'omupiira gw'amasomero...

Enteekateeka z'omupiira gw'amasomero ga ssiniya ez'omwaka guno ziwedde

Bada 220x290

Akubye munne ekikonde ekimuttiddewo...

POLIISI y’e Kitintale mu munisipaali y’e Nakawa eri ku muyiggo gw’omuvubuka akubye mutuuze munne ekikonde n’afa....

Kib2 220x290

Crested Cranes etandise okwetegekera...

Crested Cranes etandise okwetegekera world cup