TOP
  • Home
  • Amawulire
  • PLE: Abayizi 571,252 kw'abo 646,190 abaatuula bayise

PLE: Abayizi 571,252 kw'abo 646,190 abaatuula bayise

By Ahmed Mukiibi

Added 12th January 2018

SSANYU ggyereere eri abayizi 571,252 abaayise ebigezo bya PLE bye baatudde mu November 2017.

Kko28291 703x422

Mary Okwakol, ssentebe wa UNEB ng'akwasa Janet Kataha, Minisita w'Ebyenjigiriza n'emizannyo ebyavudde mu bigezo by'abayizi ebya 2017

Guno gwe muwendo gw'abayizi  ba P.7  ogukyasinze obunene mu byafaayo bya Uganda okuyita ebibuuzo bya P7 ebyakamalirizo, nga guli waggulu okusinga  ogw'abayizi  541,089 abaayise PLE ow'omwaka  2016. 

Abayizi bano 571,252  be bamu ku bayizi 646,190  ba P.7 okuva mu masomero 12,751 okwetoolola Uganda yonna abaatudde  ebibuuzo bya PLE  nga 2 ne 3 November 2017.

Minisita w'Ebyenjigiriza, Muky. Janet  Kataha Museveni yafulumizza ebyava mu  bigezo bino  ku mukolo ogwategekeddwa  mu ofiisi empya eya Pulezidenti okumpi ne Palamenti nga gwetabiddwaako Minisita w'eggwanga ow'ebyenjirizi eby'amatendekero aga waggulu, Dr. JC Muyingo, Minisita omubeezi ow’Ebyenjigiriza ebisookerwako, Rosemary Senninde n'abakungu ba Minisitule  n'ekitongole ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB.

Akulira UNEB, Mw. Dan Odongo yasoose kwanjula ebyavudde mu PLE n'oluvannyuma n'abikwasa ssentebe wa UNEB Polof. Mary Okwakol ekitabo obwaguuga omuli buli  kalonda  yenna ku  PLE   eyabikwasizza Minisita Muky. Museveni n'abifulumya mu butongole.

Odongo yategeezezza   ku mulundi guno abayizi baayise nnyo okusinga emyaka emirala gyonna  n'annyonnyola nti abayizi 571,252 abaayise, kitegeeza nti ku buli baana 100 abaatudde PLE, abaana  91 baabiyise.Omwaka ogwaggwa (2016), abayizi 541,089 be baayita PLE nga bano baali ebitundu 87 ku 100 ate nga mu mwaka 2015  abayizi abaayita PLE baali ebitundu 86.2 ku 100.

ABAANA BA UPE BONGEDDE OKUVUGANYA

Odongo yannyonnyodde nti abaana ab’omu  masomero aga UPE batandise okuvuganya n’ab’omu masomero ag’obwannannyini

Mu PLE wa 2017 abaana  abatuulidde mu masomero aga UPE  baabadde 466,235 nga bano bali ebitundu 72 ku buli 100 so nga abatuulidde mu masomero ag’obwannannyini baabadde 179,955 nga bano bali ebitundu 28 ku 100.

Ku bayizi aba UPE, abaayitidde mu guleedi esooka bali 18,363 songa  ku baatuulira mu g’obwannannyini  abaayitidde mu  guleedi esooka bali 38,819

Abayizi ba UPE  abaayitidde mu guleedi eyookubri bali 199,222 nga bano baasinze obungi ab’omu masomero ag’obwannanyini abaabadde 94,704.

Wabula Odonga yategeezezza nti abaana aba UPE bangi abaagwa PLE okusinga ab’omu masomero ag’obwannanyini nga ku luno aba UPE abaagudde baabadde 49.647  nga by’ebitundu 11 ku 100  songa ab’omu masomero ag’obwannanyini abaagudde PLE bali 7,702, nga bye bitundu 4 ku 100.

72,256 BAAGUDDE PLE

Ku bayizi 646,190 abaatudde PLE  abaana  72,256, bambi  ebibuuzo byabayisizza bubi nga baagudde era tebalina mukisa gwonna ogw’okweyongerayo okuggyako okuddamu P7.

Ku baana abo 72,256 ebibuuzo be byayisizza obubi,  abaana 57,354  baagudde enkoona n'enywa  nga kino kitegeeza nti ku buli baana 100 abaatudde, abaana 9 baagudde PLE n'olwekyo balina kuddamu P.7

Bo  abaana 14,902 , ebibuuzo byonna tebaabikola ku bimalayo  olw'ensonga ezitamanyiddwa era tebalina guleedi gye baassiddwamu n'olwekyo  nabo okufaananako nga bali abaagwiiridde ddala, nabo balina kuddamu P.7.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jamwa1 220x290

Chandi Jamwa ajulidde mu kkooti...

EYALI akulira NSSF, David Chandi Jamwa, eyazzeemu okusibwa emyaka 12 olw’okufiiriza gavumeti ssente, ajulidde ng'awakkanya...

Dttio7w4aajczb 220x290

Desabre azudde abazannyi abaamukubya...

WADDE nga mu kusooka yagaanyi okunokolayo omuzannyi ssekinnoomu gw’anenya okuviirako ttiimu okuvuya mu mupiira...

Alexgitta2 220x290

Omutendesi Gitta bamukalize emipiira...

AKAKIIKO akwasisa empisa mu FUFA kakalize omutendesi Alex Gitta ku ttiimu ya Masavu FC okumala emipiira ena nga...

Aaaabig703422 220x290

Tito Okello ne Nsibambi bagobeddwa...

OMUTENDESI wa kiraabu ya KCCA FC Mike Mutebi acwanye n’agoba abasambi babiri ababadde batandika ku ttiimu esooka...

Dtudjxexkaa9kqw 220x290

Abatikkiddwa mwewale enguzi - Polof....

YUNIVASITE y’e Makerere eggulo yatandise okutikkira abayizi, omumyuka wa Cansala Polof. Barnabas Nawangwe n’akuutira...