TOP

Abalenzi n'era baleebezza abawala

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2018

Okufaananako ng'emyaka munaana egiyise, ne ku mulundi guno, abalenzi baamezze abawala nga baayise bulungi era mu bungi.

Leosjuniorprimaryschoolmasaka 703x422

Abayizi ba Leos Junior Primary School e Masaka bafunye 4 buli omu. EKIF: ERIA LUYIMBAZI

Okufaananako ng'emyaka  munaana egiyise, ne ku mulundi guno, abalenzi baamezze abawala   nga baayise bulungi era mu bungi.  

Odongo  yategeezezza nti abalenzi baasinze abawala mu kuyitira mu guleedi esooka, n'eyookubiri, mpozzi abawala ne basinga abalenzi okuyita mu guleedi  eyookusatu n'eyookuna era ne bwe gwatuuse mu bungi bw'abaana abaagudde, abawala ne basinga abalenzi.

Abalenzi abaayitidde mu guleedi esooka baabadde 32,120 ate abawala baabadde 25,078 ate abalenzi abaayitidde mu guleedi eyookubiri baabadde 149,206 ate abawala aba guleedi eyookubiri bali 144,771.

Abawala abaayitidde mu guleedi eyookusatu bali 72,493 songa abalenzi aba guleedi eyookusatu bali 56,080 ate abawala baayitidde mu guleedi eyookuna bali 47,925 ate abalenzi aba guleedi eyookuna bali 43,529.

Ku muwendo gw’abayizi abaagudde, abawala be basinga obungi nga bali 33,685 ate abalenzi abaagudde bali 23,669.

Nga bulijjo  amasomero ag'omu bibuga  naddala ag'omu Kampala  ne Wakiso  ge gaasinze okuyita abaana  obulungi ne mu bungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wange1703422 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA ALIMU EBIKULU...

Sobi eyeewaana okutta abantu ayogeza maanyi. ISO enyigirizza Poliisi n’emuyimbula.

Manage 220x290

Gavumenti eyimirizza abaalondeddwa...

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ayimirizza okutendeka ebibinja by'abavubuka abakuuma ebyalo n'okusolooza 1,000/- okuva...

Ds2ciwsw4aaccf1 220x290

UNRA eyiiseemu omusimbi mu bajeti...

SSENTE ez’ettundutundu eryokusatu erya bajeti y’eggwanga ey’omwaka 2017/18 zifulumye ng’ekitongole kya UNRA eky’ebyenguudo...

Jamwa1 220x290

Chandi Jamwa ajulidde mu kkooti...

EYALI akulira NSSF, David Chandi Jamwa, eyazzeemu okusibwa emyaka 12 olw’okufiiriza gavumeti ssente, ajulidde ng'awakkanya...

Dttio7w4aajczb 220x290

Desabre azudde abazannyi abaamukubya...

WADDE nga mu kusooka yagaanyi okunokolayo omuzannyi ssekinnoomu gw’anenya okuviirako ttiimu okuvuya mu mupiira...