TOP

Ssemaka w'abaana 14 ayise ebibuuzo bya PLE

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2018

SSEMAKA w’abakyala babiri n’abaana 14 eyatudde P7 ayise n’awaga nti kaayongere okwanika amatofaali gakale afune ssente ezinaamuyamba mu siniya. Ssentebe ow’emyaka 45 ayise ebibuuzo bya PLE

Want 703x422

Ssentebe ( ku ddyo) ng’ali ne famire ye

BYA TOM GWEBAYANGA

Yali yakoma mu P.6 mu 1989. John Bosco Mutebe ow’emyaka 45, era ye ssentebe wa John Kyeeya - Bwaguusa LC1 mu ggombolola y’e Namwendwa Buyende, yafunye obubonero 26. Eng. 8, Math 7, SST 4 ne Science. 7.

Ebigezo yabituulidde ku Kyeeya mu kibiina baabaddemu abayizi 129. Mutebe, ng’era musomesa wa Katekisimu (catechist) ku Klezia ya St. John Chrizestom Ngandho mu disitulikiti y’e Buyende, Bukedde amusanze akuba matofaali afune fiizi z’okumuyingiza siniya agambye nti awatali kubuusabuusa, ebigezo ajja kubikuba oluku mu mutwe kuba yajja okusoma ng’amaliridde.

‘Obuwanguzi bundi mu ttaano kuba najja mmazeeko nga muwogo, n’ekirubirirwa ky’okufuuka omuntu omuyivu, nfune obukugu nkole emrimu mu byalo bikulakulane, “ Mutebe bw’awera.

Siniya ayagala kugisomera ku St Peter’s SS Namwendwa ery’essudde kiromita nga ssatu okusobola okukwataganya emisomo, emirimu gya LC n’okulabirira amaka. Ebigezo yabikola ne muwala we, Elizabesi Nambi, 13, eyasomera ku Proud Times PS eririnaanye kitaawe mwe yasomera.

Muwala we omulala, Florence Kyokaali15 , agenda mu S3 ku St. Peter’s SS Namwendwa era Mutebe yagambye nti bw’alimala S4 agenda kusoma byabulimi omuli okulima, sayansi w’ettaka, okugema n’okujanjaba ebisolo n’ebinnyonyi, kuba bino bwe bugagga abantu abawansi bwe balina, obwetaaga babeere n’omukugu abitegeera abayambenga.

Mutebe yafuuka ‘sereebbu’ omwaka oguwedde era kati buli w’ayita abantu bamuwerekera. Obwassentebe y’akabumalako emyaka17 era ayagala ekisanja ekirala.

Eky’amukaka okuddayo asome gye mikisa egy’amuyitangako olw’obutaba na biwandiiko bya maanyi, olwo abaana b’asinga obukulu ab’asomye nebamuyisaamu amaaso. .

Okusinzira ku mukulu w’essomero, Sam Caleb Opio, Mutebe lwe yeewandiisa b’amulowoleza nti azze okulambula essomero nga ssentebe nga ky’ababuukako bwe yakawangamula nti azze kusoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jamwa1 220x290

Chandi Jamwa ajulidde mu kkooti...

EYALI akulira NSSF, David Chandi Jamwa, eyazzeemu okusibwa emyaka 12 olw’okufiiriza gavumeti ssente, ajulidde ng'awakkanya...

Dttio7w4aajczb 220x290

Desabre azudde abazannyi abaamukubya...

WADDE nga mu kusooka yagaanyi okunokolayo omuzannyi ssekinnoomu gw’anenya okuviirako ttiimu okuvuya mu mupiira...

Alexgitta2 220x290

Omutendesi Gitta bamukalize emipiira...

AKAKIIKO akwasisa empisa mu FUFA kakalize omutendesi Alex Gitta ku ttiimu ya Masavu FC okumala emipiira ena nga...

Aaaabig703422 220x290

Tito Okello ne Nsibambi bagobeddwa...

OMUTENDESI wa kiraabu ya KCCA FC Mike Mutebi acwanye n’agoba abasambi babiri ababadde batandika ku ttiimu esooka...

Dtudjxexkaa9kqw 220x290

Abatikkiddwa mwewale enguzi - Polof....

YUNIVASITE y’e Makerere eggulo yatandise okutikkira abayizi, omumyuka wa Cansala Polof. Barnabas Nawangwe n’akuutira...