TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ya Militale batadde ab'akakiiko k'ettaka ku bunkenke

Poliisi ya Militale batadde ab'akakiiko k'ettaka ku bunkenke

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2018

ABAMILITALE abaabadde babagalidde emmundu n’emiggo baakulembedde mukama waabwe ne bagenda ew’omulamzi Catherine Bamugemereire, ssentebe w’akakiiko akanoonyereza ku ttaka buli eyabaddewo n’atya.

Redtop1 703x422

Omulamuzi Bamugemereire ( ku ddyo) ng’abuuza Maj. Akanyihayo ebibuuzo. ebifaananyi bya ALICE NAMUTEBI

BYA ALICE NAMUTEBI

Baagoberedde Maj. Edson Akanyihayo eyabadde n’ekiwandiiko kya kkooti ng’akiwuuba nga bw’agamba nti baamutemezzaako nti waliwo abantu abakyamu abaabadde baagala okuleeta akajagalalo ku ttaka.

Poliisi ekuuma Bamugemereire yadduse mangu okubataayiza obutatuuka omulamzi we yabadde.

Abajaasi baasoose kulaga lyaanyi nga baagala batuuke omulamuzi we yabadde kyokka poliisi ekuuma n’ebalemesa okutuusa bwe bakkakkanye. Maj. Akanyihayo eyabakulembedde yakkiriza okutuuka awali Bamugemereire.

Mu kiseera kino poliisi yabadde yeebulungudde omulamuzi Bamugemereire ne bakaminsona b’akola nabo ng’abantu abalala buli omu alinze kiddako.

Baabadde ku ttaka eryali ery’ekibira e Wabusange mu muluka gw’e Kikajjo mu ggombolola y’e Nsangi mu Wakiso eriweza yiika 450.

 aj kanyihayo ku ddyo ngali nabajaasi ba ilitale Maj. Akanyihayo ku ddyo ng'ali n'abajaasi ba Militale

Kigambibwa nti ettaka lino lyagulibwa omugagga Ephrahim Ntaganda eyasanyawo ekibira oluvannyuma n’aguza Eria Mubiru alina kontulakiti y’okuzimba mu nkambi y’e Kaweweta.

Maj. Akanyihayo olwatuuse ew’omulamuzi Bamugemereire yasoose kugamba nti, bamugambye nti abantu abakyamu bazze okutawaanya abatuuze kwe kusitukkiramu aggye akkakkanye embeera.

Bamugemereire yamuggyeeko empapula ze yabaddenazzo nga za kiwandiiko kya kkooti ekyakolebwa omuwandiisi wa kkooti Justine Akankwasa nga December 8, 2017 nga kiragira ab’ekitongole ky’ebibira (NFA) obutatawaanya Eria Matovu ng’akozesa ettaka okutuusa ng’obwannannyini bw’ettaka bumaze okusalibwawo kkooti. Yabuuziddwa oba ng’amanyi nnannyini ttaka ne yeegaana.

Bwe yabuuziddwa gye yaggye ekiwandiiko kya kkooti n’ajuliza omuserikale William Bonge eyabadde mu ngoye ezaabulijjo ng’akola gwa kukuuma Matovu.

Bamugemereire yakunyizza Bonge annyonnyole ekimuyisizza amagye n’agamba nti yakubidde mukama we Matovu eyakubidde Maj. Akanyihayo ajje ataase embeera kyokka nga Akanyihayo akyegaana nti tamanyi Matovu.

 baserikale bakakiiko nga bagaana abajaasi abazze ne aj kanyihayo okutuuka omulamuzi amugemereire we yabadde Abaserikale b'akakiiko nga bagaana abajaasi abazze ne Maj. Akanyihayo okutuuka omulamuzi Bamugemereire we yabadde.

 

Wano omulamuzi we yasinzidde okulagira Maj. Akanyihayo ne Bonge bakole sitetimeti ng’agamba nti bafunye amawulire nti amagye gakozesebwa abantu mu bukyamu okweddiza ettaka.

Akakiiko kaalagidde Jude Kikamuleta, Joseph Kiggundu ne George Bisamali abaasangiddwa mu mmotoka weetiye nga batema amakubu mu ttaka eryali ery’ekibira nabo bakole sitetimemti.

Bino nga tebinnabaawo abatuuze baabadde bamaze okutuukirira akakiiko kabayambe kalagire Matovu azzeewo enzizi kwe bakima amazzi.

Abatuuze abaakulembeddwaamu Steven Mugambire baagambye nti enzizzi zonna Matovu agenze azijjuza ettaka nga kati basigazza oluzzi lumu ku kyalo ate ng’amazzi g’emidumu tegannatuuka ku kyalo.

Baagala akakiiko kabataase enzizi ziddemu okukola nga kalagira omugagga omuziggyamu ettaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bo1 220x290

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti...

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Index 220x290

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa...

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

39248881101567630827890782826876916504461312n 220x290

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola...

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde...

Shecranes03 220x290

She Cranes ekubye Malawi mu za...

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule...

Hip1 220x290

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza...

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba