TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi 57,198 bayitidde mu ddaala erisooka: Baasinze kukola Byafaayo ne Ssaayansi

Abayizi 57,198 bayitidde mu ddaala erisooka: Baasinze kukola Byafaayo ne Ssaayansi

By Ahmed Mukiibi

Added 12th January 2018

KU bayizi 571,198 abaayise ebya PLE, abayizi 57,198 baayitidde mu guleedi esooka nga bano baafunye obubonero obuli wakati wa 4 ne 12 era balino amasomero aga Ssiniya gagenda kubalwanira okubawa ebifo mu S1.

Kko29221 703x422

Minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo, Janet Kataaha Museveni ng'ayogera oluvannyuma lw'okufulumya ebyava mu bigezo bya PLE

Kino kitegeeza nti ku buli bayizi 100 abaatudde PLE mu 2017, abayizi mwenda (9) bokka be baafunye guleedi esooka.

Odonga yategeezezza nti omuwendo gw’abayizi abaayitidde mu guleedi esooka ku luno gukendeddemu bw'ogeraageranya n’abaatuula PLE mu 2016 ng’a kw’olwo abaayitira mu guleedi esooka baali 63,400 nga bano baali abayizi ebitundu 10 ku 100.

Abayizi abaayitidde mu guleedi eyookubiri, Odongo yagambye nti bali 293,977 nga bano baafunye obubonero obuli wakati wa 13 ne 23 nga bano baasinze obungi ku baayitira mu Gguleedi eyokubiri mu PLE wa 2016 abaali 251,787.

Odonga yagambye nti  kino kitegeeza nti ku buli bayizi 100 abatuudde PLE abayizi ebitundu 46  baayitidde mu guleedi eyookubiri.

Abaayitidde mu guleedi eyookusatu  bali 128,573 nga bano baafunye obubonero wakatu wa 24 ne 29  nga bano baakendeddeko mu bungi ku baayitira mu guleedi eyookusatu mu 2016 abaali 129,252 guleedi eyookuna yayitiddemu abayizi 91,504 nga bano be bayizi abaafunye obubonero  obuli wakati wa 30 ne 34.

Abaayitira mu guleedi eyokuna mu PLE wa 2016 baali 81,2100.

 ayirekita wa udesi rimary chool ngali nabamu ku baana abatudde ebibuuzo bya  asituddwa ye umphrey ulungi nga yafunye 4 mu bigezo bino Atwala Yudesi Primary School ng'ali n'abamu ku baana be abaatudde ebibuuzo bya PLE, asituddwa ye Humphrey Mulungi nga yafunye 4 mu bigezo bino.

BAASINZE KUYITA SST ne SSAYANSI

Nga Bukedde bwe  yabagambye  ng'ebibuuzo tebinnafulumizibwa, abayizi   baasinze kuyita amasomo ga; SST ne Ssaayansi.

Odongo yagambye nti SST  abayizi gwe baasinze okwegirisizzaamu nga baamuyise ne bakunakkuna  ne baddako Ssayansi.

Abayizi ebitundu 94.6 baayise SST ate abayizi ebitundu 88.3 ne bayita Ssaayansi.

Okubala n’Olungereza, abayizi tebaakuyise bulungi ng’abaayise Olungereza bali ebitundu 85.6 ate abaayise Okubala bali ebitundu 83.8 ku 100.

Lipoota ey'abaagolodde ebigezo bya PLE bino, yalaze nti abaana ab'omulundi guno  baalaze omutindo okusinga abazze batuula  mu myaka egiyise bukyanga PLE atandika kukolebwa mu Uganda.

"  Empandiika y'abaana erongoose nnyo ate ng'engeri gye baddamu ebibuuzo eraga nti  obwongo bwabwe busaza kimu," Lipoota y'abaagolodde ebigezo bwe yalaze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.