TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana mu luwummula bakendeeze TV - Katikkiro Mayiga

Abaana mu luwummula bakendeeze TV - Katikkiro Mayiga

By Dickson Kulumba

Added 15th January 2018

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abantu naddala Bannaddiini okubunyisa enjiri y’obuntubulamu, okuggumiza kaweefube wa Nnaabagereka okufuna eggwanga eririna abatuuze ab’omugaso.

Wanted 703x422

Abayizi b’Ekisaakaate nga basala keeki ne Katikkiro Mayiga ne Nnaabagereka (akuba mu ngalo)

Yabyogedde aggalawo Ekisaakaate kya Nnaabagereka ekibumbujjidde wiiki bbiri ku St. Joseph Of Nazareth e Kavule Katende mu ssaza ly’e Mawokota nga kyakomekerezeddwa ku Ssande.

“Mbasaba mwenna ensonga y’obuntubulamu mugitwale nga enjiri buli we mugenda. Ndabye wano Bafaaza, Bamasheikh naye empisa zikendeeredde ddala.

Ababbi be muyita okujja ku mikolo, mu kkanisa batuula ku mwanjo. Bangi balwanira ebitiibwa ate n’ababirina tebabikozesezza nga bwe birina kubeera. Noolwekyo, bwe mubuulira abantu ebikwata ku buntubulamu munaaba mukwatizzaako Nnaabagereka olwo naye ayongere okutufumbira ebikulu,” Mayiga bwe yagambye.

Yatenderezza Ekisaakaate okutendeka abaana okuyiga okwetengerera n’asoomooza abazadde okukomya okukolera abaana baabwe buli kintu nga beerimbise mu ky’obutabaagaliza kubonaabona.

Yagambye nti abazadde abamu batuuka n’okutegekera abaana baabwe embaga, ekintu ekikyamu kwe kukkaatiriza nti bbulooka okulama esooka kuyita mu ttanuulu.

Yasabye abazadde okukendeeza ku mirembe gye bawa abaana ne basiiba ku ttivvi mu luwummula mu kifo ky’okuyiga emirimu eginaabatendeka okwebeezaawo mu bulamu bw’ensi eno obukalubo.

Nnaabagereka Sylivia Nagginda ne Nnaalinya Lubuga Dr. Agnes Nabaloga baabaddeyo ku mukolo guno era beegasse ku Katikkiro Mayiga okusimba omuti ku ssomero lino, okulambula ebyakoleddwa Abasaakaate n’okusala keeki.

Dr. Ssebuyiira, akulira olukiiko olutwala Nnaabagereka Development Foundation yategeezezza nti Ekisaakaate kikoze kinene okubangula abaana mu buwangwa bwabwe ne yeebaza abazadde abaabawadde abaana okubagunjula.

Ate Dr. Evelyne Kigozi akulira Finance Trust Bank ababadde abavujjirizi abakulu ab’Ekisaakaate omwaka guno, yategeezezza nti baakugenda mu maaso okuyigiriza abaana ebikwata ku nsimbi n’okutereka.

Bano bagguliddewo abaana 18 ababadde abakulembera bannaabwe akawunti ne babateerako ne ssente. John Kavuma ye yasinze banne mu Kisaakaate.

Abalala baakwasiddwa ebirabo olw’okweyisa obulungi nga ku bano kwabaddeko n’abaana b’omubaka Reagan Okumu e Gulu.

Ekisaakaate kitambulizibwa wansi w’omulamwa ‘obuntubulamu butandikira ku nze’ era Dayirekita w’essomero awaabadde omukolo guno, Omulangira Paul Mawanda Kyabaggu yategeezezza nti abaana bayize bingi n’asaba bongerwe omukisa okukitegeka.

David Ssekyeru Kayima, Omwami atwala essaza ly’e Mawokota yasabye Abaami b’amasaza okuleetebwa mu Kisaakaate, abaana babalabe kubanga bagunjulibwa mu masaza. N’abakulu b’ebika yasabye batwalibwengayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

See1 220x290

Hamza ne Rema baalaze kiraasi etabangawo:...

BULI eyabadde atuuka mu kifo omukolo gwa Rema ne Hamza ng’alabirawo ssente ezaayiiriddwaamu n’obutetenkanya. Baatimbye...

Yambala 220x290

Ebyambalo ku mukolo gwa Rema byamazeewo...

Patience Kentalo eyakuliddemu ttiimu eyayambazza Rema yagambye nti kibatwalidde emyezi mukaaga okulowooza n’okuteeka...

Wada 220x290

Obunkenke nga Hamza ayambaza Rema...

Akamwenyumwenyu kaabadde ka kiyita mu luggya omukyala bwe yazudde nti engalo ateeka ku nkyamu era n’amuwenyaako...

Tunda2 220x290

Abooluganda batabuse n’omuzzukulu...

ABOOLUGANDA batabuse lwa muzzukulu kutunda ttaka lyabwe okuli n’ebiggya nga tebamanyi.

Goba 220x290

Omukubi w'ebifaananyi bamugobye...

Aboolukiiko olufuga zooni ya Kazo Central 1 mu munisipaali y’e Nansana batabukidde Jamir Aligaweesa omukubi w’ebifaananyi...