TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Trump bamutaddeko akazito olw’okuyita Abaddugavu kaabuyonjo

Trump bamutaddeko akazito olw’okuyita Abaddugavu kaabuyonjo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2018

AMAWANGA ga Afrika gatadde akazito ku Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump okumenyawo ebigambo eby’obusosoze, okulengezza n’okutyoboola bye yakozesezza ng’ayolesa obukyayi ku mawanga amankuseere oba si ekyo, Afrika egenda kukolawo akatiisa ku Amerika.

Skynewsdonaldtrumpshithole4204110 703x422

Donald Trump

Kiddiridde Trump okuyita amawanga ag’omu Afrika ‘ebinnya bya kaabuyonjo’ bwe yabadde asisinkanye ababaka ba Palamenti ya Amerika okumuyitira mu tteeka lye baleeta ku kulung'amya abantu abayingira mu Amerika.

“ Naye lwaki Amerika yeesembereza abantu abangi bw'etyo okuva mu nsi eziringa ebinnya bya kaabuyonjo nga Haiti, Salvador n’ensi za Afrika. Waakiri abantu okuva mu nsi nga Norway naye si bantu okuva mu nsi ezitalina njawulo ku binnya bya kaabuyonjo”, Trump bwe yagambye.

Ebigambo ebyo yabyogeredde mu kafubo ak’ekyama akaabadde mu White House ku Lwokuna kyokka byasaasaanye ng’oluyiira Bannabyabufuzi ab’ekibina kya Democrats n’abeekibiina kya Trump ekya Republican ne bakwata ku mitwe nga tebakkiriza nti ebigambo ebitayisika mu kamwa ng’ebyo biyinza okuva mu kamwa ka Pulezidenti!

Amawanga ag’enjawulo nago gaavuddeyo ne gambalira Trump nti ayolesezza obusosoze mu mawanga obutabangawo mu bakulembeze ba Amerika era Norway yawadde Trump amagezi agiggye mu mboozi ze.

Ababaka b’amawanga ga Afrika mu kibiina ky’amawanga amagatte baafulumizzaawo ekiwandiiko eky’awamu nga bavumirira Trump okwolesa obusosoze mu mawanga, ejjoogo n’okutyoboola amawanga ga Afrika.

Baamuwadde amagezi abimenyewo oba si ekyo bagenda kukolawo akatiisa. Baawagidde ekibiina ky’omukago gwa Afrika ekya African Union, nakyo ekyavumiridde Trump.

Kyokka Trump yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter ng’agamba nti tannayogerako ku bigambo ebyo.

Wabula omu ku beetabye mu kafubo kano, Omubaka Dick Durblin yamulumirizza nti ddala yabyogedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai