TOP

Olutalo lwa Besigye ne Muntu lusituse buto

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2018

EKIBIINA kya FDC kyongedde okwetemamu olw’ekiragiro Ssaabawandisi w’ekibiina, Nathan Nandala Mafabi ky’awadde nga kigaana abadde Pulezidenti Maj. Gen Mugisha Muntu okukuba enkung'aana okuggyako ng’asoose okufuna olukusa okuva ku kitebe e Najjanankumbi.

Besigye 703x422

Besigye ne Muntu nga bakyalima akambugu.

Akakuubagano wakati wa Dr. Kizza Besigye ne Maj. Gen. Mugisha Muntu kasituse buto ng’abawagizi ba Muntu bagamba nti Besigye y’ali emabega w’ebbaluwa eno egambibwa nti egenderera kulemesa nteekateeka za Muntu.

Nandala Mafabi yawandiikidde bsssentebe ba FDC bonna mu disitulikiti mu ggwanga ng’abalagira obutakkiriza nkuhhaana zikubwa mu linnya ly’ekibiina okuggyako nga basoose okufuna obukakafu nti enkuhhaana ezo zakkiriziddwa ekitebe kya FDC e Najjanankumbi.

Mu bbaluwa ya Mafabi gye yawandiikidde bassentebe ba FDC ku disitulikiti nga January 10, 2018, yabategeezezza nti enkuhhaana zonna ezitegekebwa ku disitulikiti mu linnya ly’ekibiina, zirina okukakasibwa ekitebe kya FDC mu Kampala era buli ateekateeka olukuhhaana alina okusooka okulaga olukusa.

Nandala Mafabi w’awandiikidde ebbaluwa eno, nga Maj. Gen Mugisha Muntu eyaakawangulwa Ying. Patrick Oboi Amuria ku Bwapulezidenti bwa FDC, amaliriza enteekateeka ez’okukuba enkuhhaana ku buli disitulikiti okubunyisa enjiri za FDC n’okukunga abawagizi b’ekibiina okuwakanya ebikyamu ebigenda mu maaso mu Gavumenti.

Dr. Besigye naye yalangiridde wiiki ewedde nti agenda kukulemberamu aba FDC okutalaaga eggwanga ng’akuba enkuhhaana ze yatuumye “ Tubalemese” nga bawakanya ebyasaliddwaawo Palamenti okukyusa mu Konsitityusoni okuggyamu ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti okweyongeza emyaka 7.

Abakungu ku kitebe e Najjanankumbi baategeezezza nti enkuhhaana za Maj. Gen Muntu teziteesebwangako mu NEC era ekibiina tekizimanyiiko noolwekyo tezikkirizibwa.

Wabula zo enkuhhaana za Besigye, NEC yazikakasizza era Pulezidenti wa FDC Ying. Amuriat waakutambula ne Besigye nga bawakanya ebyasaliddwaawo Palamenti okukyusa Konsitityusoni.

ABAKULEMBEZE MU KIBIINA BEETEMYEMU

Olwaleero ku Mmande, Maj. Gen. Muntu lw’asuubirwa okutandika enkuhhaana ze ez’okutalaaga Uganda yonna ng’asookera Masindi, agende e Fort Portal ku Lwokubiri era omwogezi wa FDC Semujju Nganda yagambye nti enkuhhaana za Muntu zaakugenda mu maaso.

Muntu asuubirwa okuwerekerwako ababaka ba Palamenti nga 20 nga bakulembeddwaamu akulira oludda oluvuganya, Winnie Kiiza n’abakungu ba FDC okuva ku kitebe e Najjanankumbi.

Muntu yategeezezza ng’awaayo ofiisi eri Ying. Amuriat, nti akyali mmemba wa FDC omujjuvu era agenda kukwatagana ne banne bwe bafaanaganya endowooza baddemu kaweefube w’okulwanyisa ebikyamu ebigenda mu maaso n’okukunga abantu okujjumbira okwesimbawo n’okulonda obukiiko bwa LC1.

Kyokka Mafabi yategeezezza nti enkuhhaana zonna ezikubwa mu linnya lya FDC zirina okusooka okuteesebwako n’okukkaanyizibwako mu lukiiko olufuzi olw’ekibiina NEC n’annyonnyola nti enkuhhaana ezitakkiriziddwa NEC si zaakukkirizibwa.

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC atwala ekintu eky’obugwanjuba, Alice Alaso yategeezezza nti enkuhhaana za Muntu zaateesebwako mu lukiiko lwa NEC era zaakugenda mu maaso kubanga zigendereddwaamu kuzimba FDC n’okugatta bammemba.

Alaso yategeezezza nti Muntu yawandiikira dda poliisi ku nkuh− haana ze n’awaayo ne pulogulaamu y’entambula. Kwe kuwunzika nti, ebbaluwa ya Mafabi terina w’eyingirira mu pulogulaamu zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.