TOP

Gwe nateekamu ssente yansasula na kunziba

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2018

Nze Nisha Namugema 25, ndi muzannyi wa Binnayuganda, mbeera Namungoona. Omuvubuka gwe nalaga omukwano ne muwa buli kyange yansasula na kunziba.

Tata 703x422

Nnalwawo okutandika ebya balenzi kuba maama yampanga buli kye nnali nneetaaga anti ebiseera ebisinga bino bye bitengula abawala ne bagwa mu butego bw’abalenzi.

Naye nga bw’omanyi nti omuntu otuuka n’okula, ku yunivasite mu mwaka ogusembayo, nafuna omulenzi.

Bangi abaali bankwana nga beevuga nga balina ne ssente naye nga sibaagala. Gwe nafuna yali bambi talina ssente nga akyabeera na mu bazadde be naye nga mmwagala.

Yali alabika bulungi era nga talaga buyaaye. Era bwe twayagalana, twamala ebbanga nga kino nkikumye nga kyama era ne mikwano gyange tegyakimanya okutuusa bwe nabagamba.

Namutwala n’ewange era nga n’olumu asulamu antui nze bwe nava ku yunivasite natandikirawo okukola. Mu biseera we twabeerera, yali talina bulungi ssente era nga nzimuwa n’okumulabirira.

Natuuka n’okumuwa ssente apange agende ebweru kyokka nga n’ezimu nziggya ku maama nga takimanyi naye nabyo saamanya gye byagweera.

Wabula lumu tuba tumaze omwaka nga twagalana, mba hhenze okukola nga bulijjo, ng’omuvubuka ono ankubira essimu nti ayagala kkujja waka nga mugamba siriiyo kwe kuhhamba nti kaabeereyo yekka nange ne nzikiriza nti tewali buzibu.

Kati nalina ssente zange mu nnyumba naye olwokuba nali mwesiga, saakifaako.

Omusajja ono olwatuuka awaka, ng’akwata ssente zange 800,000/- ng’azitwala.

Mba ndi ku safaali nga ssente zimpeddeko, nga mmukubira nga mugamba akebere mu nnyumba ampeereze ssente. Ekyewuunyisa, yahhaamba ssente taziraba.

Nakubira munnange ndabe oba ye yazigyewo ng’essimu teriiko ate olumu nga bwe ngikuba nga tagikwata.

Nga wayiseewo wiiki emu, namukubira ambuulire gye yateeka ssente zange na hhamba nti asaba twawukane.

Tebereza omuntu gwe nawanga buli kimu okuva olwo nakoowa abasajja nkola byange. Kati myaka ebiri, ntya okuddamu okufuna omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...