TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaalongo alese ekiraamo ekikakali: Bamuziise kiro mu ntaana ya ffuuti 20

Ssaalongo alese ekiraamo ekikakali: Bamuziise kiro mu ntaana ya ffuuti 20

By Paddy Bukenya

Added 16th January 2018

SSAALONGO eyatya okusenda amalaalo ge n'alaama okumuziika mu ntaana ya fuuti 20 bamuziise kiro nga balinda entaana gye yalaama ewere!

Ssaalongo7 703x422

Abakungubazi nga baziika Ssaalongo Kulannema Ssebuliba. EBIF: PADDY BUKENYA

Abakungubazi abaagenze okuziika Ssaalongo Kulannema Ssebuliba (70) baakonkomalidde emagombe nga balinda entaana gye yalaama ewere era okukakkana nga bamuziise kiro okutuukiriza ekiraamo kye eky'okuziikibwa mu ntaana eya ffuuti 20. 

alt=''

Omugenzi Ssebuliba abadde akola ogw'okusima kaabuyonjo nga mutuuze w'e Mulero mu muluka gw'e Mazima mu Mpigi town council ye yalaama okuziikibwa mu ntaana ya ffuuti 20 ng'atidde abaana be okumutundira mu ttaka lye abagagga basenda amalaalo ge. 

 bamu ku bakungubazi abaaguminkirizza okutuuka entaana lwe yawedde okusima ne baziika omugenzi nga bwe yalaama Abamu ku bakungubazi abaaguminkirizza okutuuka entaana lwe yawedde okusima ne baziika omugenzi nga bwe yalaama

 Entaana Ssaalongo mwe yalaamu okuziikibwa ng'ekyayiikuulibwa

Okusinziira ku kiraamo kya Ssebuliba, okuziikibwa mu ntaana ya ffuuti 20 agamba nti yeewala mulambo gwe kusendebwa bagagga singa abaaanabe baba bamutundira mu ttaka ly'abalekedde era mwebamuziise nga bw'azze alaba amalaalo agenjawulo agasendeddwa abagagga nga bamulekwa batunze ettaka lye baabalekera n'agamba nti ye bwe balisenda agage waakusigala wansi eyo kuba tebayinza kumutuukako! 

 rossie assimbwa omugenzi gwe yalaamidde okumusikira Prossie Nassimbwa omugenzi gwe yalaamidde okumusikira

Mu kiraamo kye Ssebuliba yagaana okumuziika mu kkeesi n'okumuzinga mu ngoye (looti) era ne yeegulira olubugo lwe ng'akyali mulamu mwe baamuzinze nga bamuziika gattako okulaama asikirwe muwala we Prossie Nassimbwa abakungubazi kye beewuunyizza nga bagamba nti kikontana n'ebyobuwangwa bya Buganda. 

 

Wabula omwawule Moses Nsimbe ng'amaze okusabira omugenzi abakungubazi baakonkomadde nga balinda entaana eno okuwera ffuuti omugenzi ze yalaama kyokka nga abagisima basanyufu nti balina okutuukiriza ekiraamo kya munnaabwe era okukakkana nga baamuziise ssaawa 12:30 ez'akawungeezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.

Johnfb 220x290

Njagala alina empisa

Njagala eyeetegese okukola obufumbo, alina empisa n’omulimu gw’obuvunaanyizibwa okuva ku myaka 30 n’okweyongerayo....

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?