TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa Bukedde FM alondeddwa okubeera munnamawulire w'essaza ly’e Buruuli

Owa Bukedde FM alondeddwa okubeera munnamawulire w'essaza ly’e Buruuli

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2018

Owa Bukedde FM alondeddwa okubeera munnamawulire w'essaza ly’e Buruuli

Seb1 703x422

Ronald Ssebutiko munnamawulire wa Bukedde Fm embuutikizi eyaweereddwa eky'okubeera munnamawulire w'ezza ly'e Buruuli

SSAABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi asiimye omukozi wa Bukedde Fama n’amulonda okuba omwogezi w’essaza lya Buluuli.

Ronald Ssebutiko omukuh− haanya w’amawulire ku Bukedde FM Embuutikizi, ye yaweereddwa ebbaluwa mu butongole nga January 1, 2018 okuva eri omwami wa Ssaabasajja atwala essaza lya Buluuli, Kimbugwe Gerald Kyanjo.

Ssebutiko eyabadde omusanyufu olw’okusiimibwa Beene, yategeezezza nti olw’okuba Buluuli gy’azaalwa era gy’akulidde, amanyi ekimala ku Ssaza lino nga kino kyakumwanguyiza obukulembeze. Yagambye nti, ng’ayambibwako abakulu mu ssaza lino, mwetegefu okuddukanya obulungi emirimu gya Beene omuli okumanyisa Bannabuluuli ebifa embuga n’okumanyisa Embuga ebifa e Buluuli.

Kimbugwe Kyanjo yategeezezza nti Ssebutiko bazze batambula naye mu buli mbeera ebaddewo mu ssaza era abaddenga alaga obumalirivu n’okwagala eri Obuganda ate nga mwana nzaalwa kwe kussibwamu obwesige ne Beene n’asiima. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maaso 220x290

Abadde yaakayimbulwa bamuttidde...

OMU ku bamenyi b’amateeka aboolulango mu Kawempe abadde yakaligibwa emyaka esatu mu kkomera e Luzira oluyimbuddwa...

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...