TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yeeyita Pr. Bugembe n'afera endiga aggaliddwa

Abadde yeeyita Pr. Bugembe n'afera endiga aggaliddwa

By Rogers Kibirige

Added 16th January 2018

POLIISI ekutte omusajja abadde yeyita Paasita Wilson Bugembe ow’ekkanisa ya Light the World Church Nansana ku mutimbagano gwa Facebook n’anyaga abagoberezibe nga kwatadde n’okuganzika abakazi mu loogi.

Prwilson7 703x422

Pr. Bugembe ng'akunya abadde akozesa erinnya lye okufera abantu n'okuganzika abakazi mu loogi

Wilson Bafaki (35) omutuuze w’e Nyakatongo mu disitulikiti y’e Ishaka yeyakwatiddwa abaserikale ba poliisi y’e Nansana nga bali wamu n’abe Mbarara era nga kati akuumibwa mu kadduukulu ka poliisi y’e Nansana ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Bafaki nga naye mulokole abadde aweerereza mu kkanisa y’omusumba Vincent Katongole eya Life in Jesus Church esangibwa e Mbuya mu Kampala abadde yaggulawo ekibanja ku mutimbagano gwa Facebook mu mmanya ga Pr. Wilson Bugembe era nga kuno kwabadde asinziira n’aferako abagoberezi b’ekkanisa ya Light the World Church Nansana ssente nga n’abamu bali wabweru wa ggwanga.

Bafaki ku kibanjakye abadde akozesa ekifaananyi kya Pr. Bugembe era ng’akozesa n’amannya g’abaweerezabe nga na buli kintu Pr. Bugembe ky'ateeka ku mutimbagano gwe ogwa Facebook omutuufu nga naye akikoppa okusobola okumufaana wabula ye ng’asaba abantu ssente ng’agamba nti ayagala kuzimba kkanisa mpya oluvannyuma lw’okumenyawo enkadde mu mwezi gwa December wa 2017.

Pr. Bugembe yategeezezza Bukedde nti okukwata Bafaki kyaddiridde okufuna amawulire okuva mu bantu ab’enjawulo nga bamutegeeza nga bwe waliwo omuntu omulala akozesa ammanya ge ku Facebook n’anyaga abagoberezi nga kw'atadde n’okuganzika abakazi mu loogi.

Yagasseeko nti abaserikale ba poliisi y’e Mbarara baamukubidde essimu nga baagala yeeyanjule oluvannyuma lw’omuwala okwekubira enduulu nga bwe waliwo omusajja eyeeyita Pr. Bugembe eyamuganzise mu loogi emu mu kibuga ky’e Mbarara n’amunyagako ne kompyuta ekika kya Laptop kyokka nga ye tabimanyiiko mutwe na magulu.

“Natuukiridde poliisi eyasitukiddemu n’etandika okukola omuyiggo ku musajja ono Bafaki abadde annyonoonera erinnya ng’alikozesa ebikolwa bya sitaani n’emukwata era nsaba amateeka gamulamule kuba agaanyi okwogera amazima ate ng’alina abantu bangi baakolagana nabo,” Pr. Bugembe bwe yategeezezza.

Pr. Bugembe yeetondedde abantu bonna abali mu ggwanga n’abali wabweru waalyo Bafaki baabadde anyagako ensimbi n’ebintu byabwe saako abakazi baabadde aganzika mu loogi ng’agamba nti ye nga Pr. Wilson Bugembe takola bikolwa bino era tasabiriza bantu nsimbi ku Facebook era n’alabula abantu obutamala gaweereza bantu nsimbi nga tebasoose kwetegereza.

Aduumira poliisi y’e Nansana Benard Katwalo yategeezezza nga Bafaki bwe bamaze okumuggulako omusango gw’okweyita kyatali oguli ku fayiro nnamba SD REF: 82/11/01/2018 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso okuzuula abantu bonna bazze anyagako ssente ng’akozesa ennamba z’amasimu 0750 940 363, 0786 265 390 ne 0786 222 48.

Bafaki ng’ali ku poliisi e Nansana yalaajanidde Pr. Bugembe okumusonyiwa ng’agamba nti amaze ebbanga ddene ng’amwegomba wadde abadde aweereza mu kkanisa ya musumba mulala kyokka bwe yasalawo okuzimba ennyumba n’adda mu kyalo n’akozesa omukisa guno okusobola okufuna ssente ezizimba ennyumba.

Mukyala wa Bafaki naye yazze ku poliisi y’e Nansana ng’abwatema emiranga ng’asaba Pr. Bugembe asonyiwe bba ng’agamba nti ye abadde alaba mwami kuleeta ssente waka nga tamanyi nti abadde aziggya mu kukozesa linnya lya muntu mulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna