TOP

Abatemu balumbye awaka ne batta omukozi

By Joseph Makumbi

Added 16th January 2018

ABATEMU bayingiridde amaka e Ntinda emisana ttuku ne batuga omukozi w’awaka omulambo ne baleka nga bagusibidde ku kitanda kya mukama we.

Bata 703x422

Ennyumba Abdulla mw’apangisa mwe batidde omukozi.

Kigambibwa nti abatemu bano, baabadde bakulembeddwamu omusajja atera okutwala ebintu mu maka gano era mu kukola kino mwe yamanyira buli kasonda ka nnyumba.

Kiteeberezebwa nti omuvubuka ono ye yakonkonye oluggi era Hawusigaalo olwamulabye ng’amumanyi n’aggulawo nga tamanyi nti aggulira batemu! Catherine Akoth abadde omukozi mu maka g’akulira kkampuni ya Ramco Gas, okutuuka okutugibwa abatemu, yabadde waka ku Lwokutaano ne mukazi wa mukama we.

Omukyala w’awaka yabadde yaakafuluma ekikomera, abatemu abalabika nga baabadde bamutambulizaako amaaso ne beesogga ekikomera kino ekiri ku Mwanga II Road.

Kiteeberezebwa nti Sam Katabira ye yankonkonye oluggi, omukozi n’ava ku ttivvi n’ajja alabe akonkona. Mukazi wattu yalowoozezza aggulira mugenyi, kyokka abasajja abagambibwa nti baabadde basatu ne bagoberera emabega nti era abo be baatuze omuwala ono ne bamuttirawo.

Baasoose kumusiba ku miguwa nga tebannamutuga. Okusinziira ku poliisi eyakimye omulambo, baasanze Catherine bamusibye akandooya ng’emikono bagitadde ku miguwa mu maaso, nga n’amagulu bagasibye emiguwa nga bamusibidde ku kitanda kya mukamaawe.

Omuguwa ogwabadde gusibye emikono, baaguzingiridde ne mu nsingo kwe baagasse essuuka.

Okusinziira ku baliraanwa, abatemu bandiba nga baabadde baagala ssente kubanga bakimanyi nti nnannyini maka gano Abdulla Ali Muhammad musajja mugagga era kiteeberezebwa nti okutta omukozi baabadde baamubuuza bakama be gye batereka ssente.

Ekisinga okwewuunyisa, ababbi baayingidde ne batuga omuwala nga ne wansi ebusukka kkubo, waliwo abaserikale abakuuma kkampuni etwala abantu ebweru abalina n’emmundu naye tebasoobodde kuwulira kigenda mu maaso.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino bakutteko babiri okuli Sam Katabira ow’e Kireka ne Edward Luwandi ow’e Bweyogerere.

Ebimu ku bizuuliddwa bambega babyesigamya kw’ebyo bye baggye mu kukunya abaakwatiddwa.

Yagambye nti, baabadde bakozesa mmotoka kika kya Ipsum era abalala gye baakozesezza okudduka nti kyokka, amannya gaabwe bonna baagategedde ne gye babeera era mu bbanga ttono bajja kubakwata.

Fayiro CRB 09/2018 yagguddwaawo ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso ate omulambo gwakwasiddwa abooluganda ne bamuziika.

Ali Abdulla Mohammad nnannyini maka mwe battidde omukozi yagambye nti, ababbi okuyingira ewuwe ne batta omukozi, waakiri banditutte buli kintu ekiri mu nnyumba.

OMUKAZI OMULALA BAMUTEMYEKO OMUTWE NE BAGENDA NAGWO

Abatuuze mu disitulikiti y’e Gomba ne Butambala bali mu kutya olw’ettemu eryakoleddwa ku mukazi atannategerekeka gwmu mugga Ssembula ogwawula Gomba ku Butambala.

Ku ssaawa nga 5:00 ez’emisana, abatuuze abaabadde batambula be baagudde ku mulambo gw’omukazi eyabadde ayambadde ggomesi emyufu ng’erimu ebiddugavu wabula baagenze okukubira poliisi okugunnyulula nga teguliiko mutwe.

Kino, kyawadde poliisi n’abatuuze akaseera akazibu okumanya ebikwata ku mukazi eyabadde afudde n’okuzuula omutwe gye guli. Ku mabbali g’omugga, waasangiddwawo ekicupa ky’amazzi, ssabbuuni n’obugatto bw’ekikyala obusonsekebwamu ebigere.

Abatuuze kino baakitapuse nti abatemu bandiba nga bwe baamaze okutta omukazi ono, baatutte obudde ne banaaba ne mu ngalo nga tebannavaawo. Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga, Emilian Kayima yagambye nti, omugigi omuto, gweyongedde nnyo mu buzzi bw’emisango n’ategeeza nti abantu bonna be baakutte mu ttemu ly’ebijambiya e Bukomansimbi, bavubuka bato ekyetaaga okutunulwamu okuviira ddala mu maka abaana gye bakulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rog1 220x290

Rogers Mulindwa ayogedde ku bya...

Rogers Mulindwa ayogedde ku bya Bobi Wine okufuna ssente mu America

Jip3 220x290

Bobi Wine bamusondedde ddoola mu...

Bobi Wine bamusondedde ddoola mu Amerika

Rem2 220x290

Halimah Namakula ayogedde ku nsonga...

Halimah Namakula ayogedde ku nsonga ya Rema ne Kenzo omulundi gwe ogusookedde ddala

Tip2 220x290

Halimah Namakula ayingiddewo okuva...

Halimah Namakula ayingiddewo okuva mu America yesunga mukolo gwa Rema

Kylianmbappe1 220x290

Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi...

KYLIAN Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi asinga ebbeeyi mu nsi yonna.