TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DP ezudde ebituli mu mitendera egyayitiddwamu okukyusa Konsityusoni: Egenze mu kkooti

DP ezudde ebituli mu mitendera egyayitiddwamu okukyusa Konsityusoni: Egenze mu kkooti

By Muwanga Kakooza

Added 16th January 2018

DP etegeezezza nti ezudde ‘’ebituli’’ mu mitendera ababaka gye baagobereranga okukyusa Konsityusoni okuggyamu akawaayiro ku myaka gya Pulezidenti n’okweyongezaayo ekisanja okutuuka mu 2023 ky’egamba nti kigenda kugiyamba okutwala ensonga zino mu kkooti ebyasiddwaamu ebisazeemu.

Mao22 703x422

Mao ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala.

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao era agambye nti abeenyigidde mu kukyusa Konsityusoni balinga abeeyimbyemu omuguwa okwetuga kuba batambula beebwalabwala ng’abantu babang'oola n’okubaboola.

Bino abitegeezezza mu lukung’ana lwa bannamawulire lw’atuuzizza ku kitebe kya DP mu Kampala n’agamba nti Palamenti bwe yali eyisa ebbago ly’okukyusa Konsityusoni tebaakuba kalulu nga bagoberera bungi bw’ababaka baali beetaagisa kuyisa  buli nnyingo (clause) eyali mu kawaayiro kano  wabula byonna babiyisiza wamu mu ngeri eya katogo ekimenya Konsityusoni.

‘’Bino twagala kubitwala mu kkooti  ebiwakanye era tukakasa ejja kubikanyuga ebbali. Buli nnyingo (clause) gye baayisa  mu kawaayiro kano yali erina okukubwako akalulu ng’omuwendo gw’ababaka ogwetaagisa weguli sso ssi kubiyisizza wamu mu katogo nga bwe baakola. Tugenda kwegatta ku kibiina ekigatta bannatteeka  okubiwakanyizza mu kkooti’’ Mao bw’agambye.

N’agamba nti abeetaba mu kukyusa Konsityusoni bagenda kulondoolwa babanike mu bantu n’okubalemesa mu by’obufuzi.

Kyokka Pulezidenti Museveni ng’ayogera mu kuggulawo 2017 yawaanye abaakyusizza Konsityusoni nti baakola omulimu gwa ttendo ne bawonya eggwanga amasang'anzira ge lyalimu era n’abagumye nti eby’okubakanga ebibakolebwamo ‘’bitono nnyo’’ bw’ogerageranya ebiseera ebizibu eggwanga bye lizze liyitamu omuli n’amasasi.

Mao era ategeezezza nti ekibiina kigenda kukolagana n’ab’oludda oluvuganya abalala okusigala nga bakyalemesa gavumenti mu ngeri yonna esoboka.

N'ayongerako nti ng’ekibiina bwe kigenda okutongoza akakiiko akagenda okuyamba okuzimba ekitebe kyako ekiggya e Lubaga ekimanyiddwa nga ‘’Ben Kiwanuka House’   mu Febuary w’omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...